Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.
18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
2 (A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
3 (B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
era amponya eri abalabe bange.
4 (C)Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
5 (D)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
6 (E)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
7 (F)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
kubanga yali asunguwadde.
8 (G)Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
Omuliro ne guva mu kamwa ke,
ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
9 (H)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 (I)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 (J)Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 (K)Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 (L)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 (M)Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 (N)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
11 (A)Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. 12 (B)Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro. 13 Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato. 14 Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato. 15 (C)Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu. 16 Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.
17 (D)Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi. 18 Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 19 (E)Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka. 20 Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu. 21 (F)Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna. 22 (G)Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa. 23 (H)Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.
24 (I)Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.
Okukendeera kw’Amataba
8 (J)Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; 2 (K)ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa, 3 n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde; 4 ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati. 5 Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika.
4 (A)Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olw’okusalirwako omusango. 5 (B)N’ensi ey’edda teyagisaasira, n’aleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, n’alokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu n’abalala musanvu. 6 (C)Era yasalira omusango abaali mu bibuga by’e Sodomu n’e Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bw’atyo n’alaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda. 7 (D)Kyokka n’awonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olw’obulamu obw’abantu abo abajeemu. 8 Olw’okubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era n’awuliranga ebikolwa eby’obujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu. 9 (E)Mukama amanyi okuwonya n’okuggya mu kugezesebwa abamutya, n’abonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olw’okusalirako omusango, 10 (F)n’okusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okw’omubiri ne banyooma abakulembeze baabwe.
Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.