Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 6

Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
    so tombonereza mu kiruyi kyo.
(B)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
    Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
(C)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
    Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

(D)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
    omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
(E)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
    Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

(F)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.

Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
    n’omutto ne gutoba.
(G)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
    tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

(H)Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;
    kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
(I)Mukama awulidde okwegayirira kwange,
    n’okusaba kwange akukkirizza.
10 (J)Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;
    bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Mikka 7:1-7

Ddala zinsanze nze.
    Ndi ng’omuntu akungula ebibala
    okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
    wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
(A)Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
    tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
    buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
(B)Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
    omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
    n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
    nga basala enkwe.
(C)Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
    asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
    era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
(D)Tewesiga muntu n’omu,
    wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
    Weegendereze by’oyogera.
(E)Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
    n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
    Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.

(F)Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
    nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.

Okubikkulirwa 2:1-7

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso

(A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.

(B)Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. (C)Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.

(D)Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. (E)Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. (F)Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti[a] nga nange bwe mbikyawa.

(G)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.