Revised Common Lectionary (Complementary)
11 (A)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (B)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
13 (C)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (D)Onnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 (E)amataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.
Yeremiya Ayigganyizibwa ng’Abuulira
20 (A)Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno, 2 (B)n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama. 3 (C)Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu. 4 (D)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala. 5 (E)Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni. 6 (F)Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”
53 Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako, 54 (A)nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.
Ebirabula n’Ebigumya
12 (B)Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo. 2 (C)Tewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa. 3 Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.