Revised Common Lectionary (Complementary)
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
5 (D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 (E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.
8 (F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 (G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”
37 (A)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 (B)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (C)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (D)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (E)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 (F)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (G)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (H)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (I)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu
10 (A)Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange
olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 (B)Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,
ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 (C)Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;
era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 (D)Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 (E)Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15 Lyewalenga, tolitambulirangamu,
liveeko okwate ekkubo lyo.
16 (F)Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17 Okukola ebibi y’emmere yaabwe,
n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
18 (G)Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 (H)Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
tebamanyi kibaleetera kwesittala.
20 (I)Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 (J)ebigambo bino tebikuvangako,
bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 (K)kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 (L)Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 (M)Ttereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
27 (N)Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Abatume Ekkumi n’Ababiri
12 (A)Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda. 13 (B)Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:
14 Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni,
ne Yakobo,
ne Yokaana,
ne Firipo,
ne Battolomaayo,
15 (C)ne Matayo,
ne Tomasi,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo,
ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote,[a]
16 ne Yuda, omwana wa Yakobo,
ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
Yesu Ayigiriza era Awonya
17 (D)Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni, 18 ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa; 19 (E)era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.