Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”
54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2 (B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
3 (C)Abantu be simanyi bannumba;
abantu abalina ettima abatatya Katonda;
bannoonya okunzita.
4 (D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.
5 (E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
obazikirize olw’obwesigwa bwo.
24 (A)Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya oluyi ku ttama, n’ayogera nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko atya okwogera nawe?”
25 (B)Awo Mikaaya n’addamu nti, “Laba, ekyo onokimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”
26 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mumuzzeeyo ewa Amoni omukulu w’ekibuga, n’eri Yowaasi mutabani wa kabaka, 27 (C)era mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti: muteeke omuntu ono mu kkomera, ate temumuwa ekintu kyonna okuggyako omugaati n’amazzi okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ”
28 (D)Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.”
Okufa Kwa Akabu e Lamosugireyaadi
29 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 30 (E)Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala n’agenda mu lutalo.
31 (F)Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi b’amagaali nti, “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.” 32 Awo abaduumizi b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati n’aleekaanira waggulu, 33 abaduumizi b’amagaali ne bategeera nti si ye kabaka wa Isirayiri ne balekeraawo okumugoba.
34 (G)Awo omuntu omu n’amala galasa akasaale ke, ne kakwata kabaka wa Isirayiri ebyambalo bye eby’ebyuma we bigattira, n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa.” 35 Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye n’Abasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, n’oluvannyuma n’afa. 36 (H)Enjuba bwe yali ng’eneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga ky’ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y’ewaabwe!”
37 Awo kabaka n’afa n’aleetebwa e Samaliya, era n’aziikibwa eyo. 38 (I)Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa.
39 (J)Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Akabu, n’ebyo bye yakola, n’olubiri lwe yazimba n’alulongoosa n’amasanga, n’ebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 40 Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Akaziya mutabani we n’amusikira.
25 (A)Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira. 26 N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,
“Omulokozi aliva mu Sayuuni,
era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 (B)Era eyo ye ndagaano yange nabo,
bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”
28 (C)Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe. 29 (D)Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 30 (E)Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31 bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 32 (F)Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.