Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!

Isaaya 30:27-33

27 (A)Laba, erinnya lya Mukama liva wala
    n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
    n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
28 (B)Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
    agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
    era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29 (C)Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
    alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31 (D)Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
    alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
32 (E)Buli muggo Mukama gw’anakukubanga
    n’oluga lwe olubonereza,
guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,
    ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
33 (F)Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;
    ky’ateekebwateekebwa kabaka.
Ekinnya kyakyo eky’omuliro
    kiwanvu era kigazi,
kijjudde omuliro n’enku;
    omukka gwa Mukama
    gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.

Abaruumi 2:1-11

Omusango Katonda aligusala na bwenkanya

(A)Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango. Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ng’ebyo. Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ng’ebyo, kyokka n’onenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka? (B)Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?

(C)Naye olw’obukakanyavu bwo n’omutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lw’ekiruyi n’okubikkulirwa, Katonda lw’alisalirako omusango ogw’obutuukirivu. (D)Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. (E)Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. (F)Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. (G)Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 10 (H)Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 11 (I)Kubanga Katonda tasosola mu bantu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.