Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 15

Zabbuli ya Dawudi.

15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
    Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

(B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
    akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
    (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
    so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
(D)Anyooma ababi,
    naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
    ne bwe kiba nga kimulumya.
(E)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Okuva 34:8-28

Amangwago Musa n’avuunama wansi, n’asinza. (A)N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.”

10 (B)Awo Mukama n’addamu nti, “Laba, nkola naawe endagaano. Nzija kukolera mu bantu bo ebyamagero ebitakolwangako mu nsi yonna, wadde mu ggwanga lyonna. Abantu bonna b’oli nabo banaalaba eby’ekitalo Mukama by’anaakolera mu ggwe.

Okulabula ku Kusinza Ebifaananyi

11 (C)“Gondera bye nkulagira leero. Nange, gye mulaga, nzija kugobayo Abamoli, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi. 12 (D)Kirungi weekuume oleme kukola ndagaano n’abatuuze ab’omu nsi gy’olagamu, kubanga bayinza okubafuukira omutego. 13 (E)Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, n’otemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza. 14 (F)Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya.

15 (G)“Temukolanga ndagaano ey’okukolagana n’abatuuze b’omu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo n’abayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo. 16 (H)Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.

17 (I)“Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.

Amateeka ku Mbaga Ennonde

18 (J)“Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ogikwatanga. Munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitali mizimbulukuse, mu kiseera ekyategekebwa mu mwezi gwa Abibu nga bwe nabalagira; kubanga mu mwezi gwa Abibu mwe mwaviira mu Misiri.

19 (K)“Ebiggulanda byonna byange, n’ennume zonna mu magana go embereberye, oba nte oba ndiga. 20 (L)Endogoyi embereberye onoozinunulanga n’endiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo n’ogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa.

21 (M)“Onookolanga okumala ennaku mukaaga, naye ku lunaku olw’omusanvu n’owummula; ne mu biseera eby’okukabala n’ebyokukungula onoowummulanga.

22 (N)“Onookwatanga Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Amakungula g’Ebibala Ebibereberye eby’Eŋŋaano, n’Embaga ey’Okuyingiza Amakungula ku nkomerero y’omwaka. 23 (O)Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali Mukama Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka. 24 (P)Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya n’ensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali Mukama Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka.

25 (Q)“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.

26 (R)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.

“Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”

27 (S)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.” 28 (T)Musa n’abeera eyo ne Mukama, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi.

Yokaana 18:28-32

Yesu mu maaso ga Piraato

28 (A)Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako. 29 Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”

30 Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”

31 Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”

32 (B)Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.