Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 81:1-10

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
    muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
(B)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
    n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
    era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
    lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
(C)Yaliteekera Yusufu,
    Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
    gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.

(D)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
    n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
(E)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
    nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
    ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
(F)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
    Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
(G)Temubeeranga na katonda mulala,
    wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (H)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
    Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

Okuva 31:12-18

Ssabbiiti

12 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 13 (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.

14 (B)“ ‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe. 15 (C)Emirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa. 16 Noolwekyo abaana ba Isirayiri banaakumanga olunaku lwa Ssabbiiti, nga balujjukira mu mirembe gyabwe gyonna, ng’endagaano etaggwaawo. 17 (D)Kanaabeeranga kabonero wakati wange n’abaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Mukama yakola eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olw’omusanvu n’alekeraawo okukola, n’awummula.’ ”

18 (E)Awo Mukama bwe yamaliriza okwogera ne Musa ku lusozi Sinaayi, n’awa Musa ebipande bibiri eby’amayinja, eby’Endagaano Katonda gye yawandiika n’engalo ye, ye kennyini.

Ebikolwa by’Abatume 25:1-12

Pawulo Ajulira ewa Kayisaali

25 (A)Fesuto yamala ennaku ssatu mu Kayisaliya ng’azze okutandika emirimu gye emiggya, n’asitula okugenda e Yerusaalemi. (B)Bwe yali ali eyo, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bamutegeeza bye baali bavunaana Pawulo. Ne bamwegayirira abayambe atumye Pawulo aleetebwe mu Yerusaalemi, kubanga baali bategeka bamuttire mu kkubo. (C)Naye Fesuto n’abaddamu nti, “Nga Pawulo bw’ali mu Kayisaliya, ate nga nange nzija kuddayo mu nnaku ntono, abakulembeze mu nsonga ezo tugende nabo nga nzirayo.” Obanga waliwo omusango Pawulo gw’azizza baguleete mu mbuga z’amateeka awozesebwe.

(D)Oluvannyuma lw’ennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto n’aserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera n’alagira Pawulo aleetebwe mu mbuga z’amateeka. (E)Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy’amaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo. (F)Pawulo n’awoza ng’agamba nti, “Simenyanga mateeka ga Kiyudaaya n’akamu, era siyonoonanga Yeekaalu, so sijeemeranga Kayisaali.” (G)Fesuto, olw’okwagala okusanyusa Abayudaaya, n’abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gy’oba owoleza emisango gino mu maaso gange?”

10 Awo Pawulo n’addamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso g’embuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya. 11 Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ng’emisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kw’osinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.” 12 Fesuto, bwe yamala okuteesaamu n’abamuwa amagezi, n’addamu nti, “Nga bw’ojulidde ewa Kayisaali, kale, onootwalibwa ewa Kayisaali.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.