Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 (B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3 (C)Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 (D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5 (E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 (F)Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Samusooni Awasa
14 (A)Awo Samusooni n’aserengeta e Timuna[a] n’alaba omukazi mu bawala ab’Abafirisuuti. 2 (B)N’addayo eka, n’ategeeza kitaawe ne nnyina ng’agamba nti, “Nalabye omukazi ku bawala ab’Abafirisuuti mu Timuna. Kale mumumpasize kaakano.”
3 (C)Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, “Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?”
Naye Samusooni n’addamu kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye.” 4 (D)Kitaawe ne nnyina tebaamanya ekyo nga kyava eri Mukama Katonda, kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Mu biro ebyo Abafirisuuti be baafuganga Isirayiri. 5 Awo Samusooni ne kitaawe ne nnyina ne bagenda e Timuna. Bwe baali basemberedde ennimiro z’emizabbibu egy’omu Timuna, empologoma ento n’ewuluguma nga bw’emulumba. 6 (E)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina. 7 Samusooni n’aserengeta n’agenda n’anyumya n’omukazi era n’amusiima.
8 Ebbanga bwe lyayitawo, n’addayo okumuwasa, naye aba ali ku lugendo, n’akyama okulaba omulambo gw’empologoma, era laba, nga mu mulambo gw’empologoma mulimu enjuki n’omubisi gw’enjuki. 9 N’atoola ku mubisi n’engalo ze, n’atambula n’agenda. Bwe yasiŋŋaana kitaawe ne nnyina nabo n’abawaako ne balya, wabula n’atabagamba nti omubisi ogwo gwe balya aguggye mu mulambo gw’empologoma.
10 Awo n’aserengeta ne kitaawe eri omukazi, era Samusooni n’akolerayo embaga ng’empisa y’abawasa bwe yali. 11 Abafirisuuti bwe bajja okulaba Samusooni, ne bamuwa bannaabwe amakumi asatu okumuwerekerako.
12 (F)Awo Samusooni n’abagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe mulikivvuunula ennaku omusanvu ez’embaga nga tezinnaggwaako, ndibawa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu. 13 Naye bwe kinaabalema okuddamu, muteekwa okumpa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu.” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
14 N’abagamba nti,
“Mu muli mwavaamu ekyokulya
Mu w’amaanyi mwavaamu ekiwoomerera.”
Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.
15 (G)Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?” 16 (H)Mukazi wa Samusooni n’agenda gy’ali ng’akaaba amaziga, ng’agamba nti, “Ddala ddala onkyawa so tonjagala. Wakokkolera abasajja b’omu bantu bange ekikokko, naye n’otakivvuunula.”
N’amuddamu nti, “Laba sinnakivuunulira kitange newaakubadde mmange, noolwekyo lwaki nkikuvuunulira?” 17 (I)N’amukaabirira okumala ebbanga eryo lyonna ery’embaga, olwo n’alyoka akimuvuunulira, kubanga yamwetayirira nnyo. N’oluvannyuma omukazi n’annyonnyola abasajja b’omu bantu be ekikokko. 18 (J)Awo ku lunaku olw’omusanvu enjuba nga tennagwa abasajja ab’omu kibuga ne bagamba Samusooni nti,
“Kiki ekisinga omubisi gw’enjuki okuwoomerera?
Kiki ekisinga empologoma amaanyi?”
N’abaddamu nti,
“Singa temwalimya nnyana yange,
temwandivuunudde kikokko kyange.”
19 (K)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’aserengeta e Asukulooni[b] n’atta abasajja amakumi asatu, n’abambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe n’aziwa abavvuunula ekikokko. N’anyiiga nnyo, n’ayambuka n’addayo ewa kitaawe. 20 (L)Mukazi wa Samusooni ne bamuwa mukwano gwe, eyabeeranga ne Samusooni.
Okwebaza n’okusaba Katonda
3 (A)Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4 (B)era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. 5 (C)Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. 6 (D)Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. 7 (E)Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. 8 Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. 9 (F)Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 10 (G)mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 11 (H)nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.
Obusibe bwa Pawulo bubunyisa Njiri
12 Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri, 13 (I)n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna. 14 (J)N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.