Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
19 (A)“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 20 (B)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
21 (C)“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 22 (D)Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 23 (E)Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?
24 (F)“Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.
Yesu Abuuzibwa Obuyinza gy’Abuggya
27 Yesu n’abayigirizwa be bwe baakomawo mu Yerusaalemi yali atambulatambula mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali 28 ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?”
29 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange n’ababuulira eyampa obuyinza obwo! 30 Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!”
31 Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 32 (A)Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.
33 Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.”
Awo Yesu n’abaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.