Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 133

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

133 (A)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
    abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

(B)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
    ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
    ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
(C)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
    ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
    n’obulamu emirembe gyonna.

Olubereberye 48:8-22

Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”

(A)Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”

N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”

10 (B)Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.

11 (C)Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”

12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 (D)Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 (E)Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.

15 (F)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,

“Katonda wa jjajjange
    Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
    okutuusa leero,
16 (G)Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
    owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
    era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
    mu maaso g’ensi.”

17 (H)Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”

19 (I)Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20 (J)Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,

“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,
    ‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”

Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.

21 (K)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22 (L)Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”

Abaebbulaniya 11:23-29

23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.

24 (A)Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 (B)n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 (C)Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 (D)Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 (E)Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.

29 (F)Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.