Revised Common Lectionary (Complementary)
Yeremiya Yeekaabirako
15 (A)Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
Nzijukira ondabirire.
Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
16 (B)Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (C)Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
era wandeetera okwekyawa.
18 (D)Lwaki okulumwa kwange tekukoma
era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
ng’ensulo ekalira?
19 (E)Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,
“Bwe muneenenya,
ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
so si ggwe okugenda gye bali.
20 (F)Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
okukununula, n’okukulokola,”
bw’ayogera Mukama.
21 (G)“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi
era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 (B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 (C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 (D)Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 (E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 (F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 (G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 (H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
Okwagala
9 (A)Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, 10 (B)nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, 11 (C)mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, 12 (D)nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. 13 (E)Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14 (F)Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. 15 (G)Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 16 (H)Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17 (I)Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. 18 Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna; 19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama. 20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” 21 Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
21 (A)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”
23 (B)Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”
24 (C)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere. 25 (D)Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya. 26 Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe? 27 (E)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.