Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.
18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
20 (A)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (B)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (C)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
era nneekuuma obutayonoona.
24 (D)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
25 (E)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (F)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (G)Owonya abawombeefu,
naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (H)Okoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (I)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
28 Lye ggwanga omutali magezi,
mu bo temuliimu kutegeera.
29 (A)Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
30 (B)Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
abalabe baffe bakiriziganya naffe.
32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,
n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;
ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,
ebirimba byazo bikaawa;
33 (C)wayini waazo bwe butwa bw’emisota
obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.
34 (D)Ekyo saakyeterekera,
nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
35 (E)Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.
Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,
obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,
n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
36 (F)Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,
alisaasira abaweereza be,
bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,
omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
37 (G)N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,
olwazi mwe beekweka.
38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,
ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?
Basituke bajje babayambe,
kale babawe obubudamo babakuume!
39 (H)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
nfumita era ne mponya;
era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
33 (A)Kale nga Katonda wa kitalo,
ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 (B)“Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?
Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 (C)“Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,
alyoke amuddizeewo?”
36 (D)Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.
Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.