Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
11 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 12 (A)“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi
era nga watuukirira mu bulungi.
13 (B)Wali mu Adeni,
ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
sadio, topazi, alimasi, berulo,
onuku, yasipero, safiro,
ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 (C)Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,
nakwawula lwa nsonga eyo.
Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,
n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna
okuva ku lunaku lwe watondebwa,
okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 (D)Mu bikolwa byo ebingi,
wajjula empisa embi,
era n’okola ebibi.
Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,
mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga
okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 (E)Omutima gwo gwalina amalala
olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 (F)Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo
oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.
Kyenava nziggya omuliro mu ggwe
ne gukusaanyaawo,
ne nkufuula evvu ku nsi
wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 (G)Amawanga gonna agaakumanya
gaatya nnyo;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
6 (A)Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu? 2 (B)Oba temumanyi ng’abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe? 3 Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno? 4 Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi? 5 (C)Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda? 6 (D)Naye owooluganda ayinza okuwoza n’owooluganda mu maaso g’abatali bakkiriza?
7 (E)N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? 8 (F)Naye musobya baganda bammwe ne mubalyazaamaanya. 9 (G)Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga,[a] 10 newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 11 (H)Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.