Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (A)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (B)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (C)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
20 (A)“Mwekuŋŋaanye mujje,
mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.
Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,
abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 (B)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
tewali mulala wabula nze.
22 (C)“Mudde gye ndi, mulokoke,
mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,
kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 (D)Neerayiridde,
ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
na buli lulimi lulirayira!
24 (E)Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”
Bonna abaamusunguwalira
balijja gy’ali nga baswadde.
25 (F)Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu
era mwe liryenyumiririza.
Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu
15 (A)Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. 2 (B)Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. 3 (C)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,
“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
4 (D)Ani ataakutye Ayi Mukama,
n’atagulumiza linnya lyo?
Ggwe wekka gwe Mutukuvu,
amawanga gonna galijja
ne gasinziza mu maaso go,
Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.