Revised Common Lectionary (Complementary)
14 (A)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (B)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (C)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (D)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (E)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (F)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (G)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama
17 (A)Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi
eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,
eyanywa n’omaliramu ddala
ekibya ekitagaza.
18 (B)Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala
tewali n’omu wa kumukulembera.
Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza
tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.
19 (C)Ebintu bino ebibiri bikuguddeko
ani anaakunakuwalirako?
Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,
ani anaakubeesabeesa?
20 (D)Batabani bo bazirise,
bagudde ku buli nsonda y’oluguudo
ng’engabi egudde mu kitimba.
Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,
n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
21 (E)Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22 (F)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
Katonda wo alwanirira abantu be.
“Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa
olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.
Temuliddayo
kukinywa nate.
23 (G)Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti,
‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’
Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka,
ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”
6 (A)Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala. 7 (B)Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.” 8 (C)Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu. 9 (D)Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
10 (E)Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto. 11 (F)Naye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli, 12 (G)si lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.” 13 (H)Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.