Revised Common Lectionary (Complementary)
ע Ayini
121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (A)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (B)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (C)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
era onjigirize amateeka go.
125 (D)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (E)Naye nze njagala amateeka go
okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (F)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
Sulemaani Asala Omusango Omuzibu
16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17 Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18 Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.
19 “Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20 N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21 Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”
22 Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”
Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.
23 Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ”
24 Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala. 25 N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”
26 (A)Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”
28 (B)Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.
Amagezi agava mu ggulu
13 (A)Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 (B)Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 (C)Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.
17 (D)Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 18 (E)Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.