Revised Common Lectionary (Complementary)
8 (A)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (B)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (C)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (D)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (E)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (F)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
6 (A)“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.
7 (B)“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.” 8 (C)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye. 9 (D)Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.
10 (E)“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama. 11 “Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli. 12 (F)Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi. 13 (G)Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”
Okulwanagana n’Ekibi
7 (A)Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” 8 (B)Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu. 9 Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa. 10 (C)Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa. 11 (D)Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita. 12 (E)Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.
13 Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.
14 (F)Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. 15 (G)Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 (H)Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 (I)Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 (J)Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 (K)Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 (L)Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.