Revised Common Lectionary (Complementary)
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
15 (A)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (B)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (C)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (D)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
8 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, 9 (A)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. 10 (B)Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. 11 (C)Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
12 (D)“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama. 13 “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. 14 (E)Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
7 (A)Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? 8 (B)Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. 9 (C)Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 (D)Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 (E)Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.