Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 69:7-10

(A)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
    n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
(B)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
    munnaggwanga eri abaana ba mmange.
(C)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
    n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (D)Bwe nkaaba ne nsiiba,
    ekyo nakyo ne kinvumisa.

Zabbuli 69:11-15

11 (A)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (B)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
    era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 (C)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
    mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
    ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (D)Onnyinyulule mu ttosi
    nneme okutubira;
omponye abankyawa,
    onzigye mu mazzi amangi;
15 (E)amataba galeme okumbuutikira
    n’obuziba okunsanyaawo,
    n’ennyanja ereme okummira.

Zabbuli 69:16-18

16 (A)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
    onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (B)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
    kubanga ndi mu kabi.
18 (C)Onsemberere onziruukirire,
    onnunule mu balabe bange.

Yeremiya 20:1-6

Yeremiya Ayigganyizibwa ng’Abuulira

20 (A)Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno, (B)n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama. (C)Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu. (D)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala. (E)Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni. (F)Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”

Lukka 11:53-12:3

53 Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako, 54 (A)nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.

Ebirabula n’Ebigumya

12 (B)Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo. (C)Tewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa. Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.