Revised Common Lectionary (Complementary)
Obutukuvu n’Enneeyisa y’Omuntu
19 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa 2 (A)ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
9 (A)“Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. 10 Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
11 (B)“Tobbanga.
“Tokumpanyanga.
“Temulimbagananga.
12 (C)“Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
13 (D)“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye.
“Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.
14 (E)“Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
15 (F)“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.
16 (G)“Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno.
“Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama.
Etteeka ku Kwagala
17 (H)“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.
18 (I)“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.
ה Eh
33 (A)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
kubanga mwe nsanyukira.
36 (B)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (C)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (D)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (E)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
onkomyewo mu butuukirivu bwo.
16 (A)Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? 17 Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.
18 (B)Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. 19 (C)Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” 20 (D)Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.” 21 (E)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe, 22 (F)oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe, 23 (G)nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.
Eriiso Okugatta Eriiso
38 (A)“Mwawulira nga kyagambibwa nti, ‘Omuntu bw’anaggyangamu eriiso lya munne n’erirye linaggibwangamu. Oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu.’ 39 (B)Naye mbagamba nti, Temuwakananga na mubi, naye omuntu bw’akukubanga oluyi ku ttama erya ddyo omukyusizanga n’ettama eryokubiri. 40 Omuntu bw’ayagalanga okuwoza naawe atwale essaati yo, omulekeranga n’ekkooti yo. 41 N’oyo akuwalirizanga okumwetikkirako omugugu gwe kilomita emu, omutwalirangako n’eyokubiri. 42 (C)Akusaba omuwanga, n’oyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega.”
Mwagale Abalabe Bammwe
43 (D)“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’ 44 (E)Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya! 45 (F)Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi, era n’enkuba agitonnyeza ab’amazima n’abatali ba mazima. 46 (G)Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? N’abawooza bwe bakola bwe batyo. 47 Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki n’abalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo. 48 (H)Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.