Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
    Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
(B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
    Olulimi lwo lwogi nga kkirita
    era buli kiseera lwogera bya bulimba.
(C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
    n’okulimba okusinga okwogera amazima.
(D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
    Ggwe olulimi kalimbira!

(E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
(F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
(G)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

(H)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
    ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
    emirembe n’emirembe.
(I)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
    Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
    era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Yoswa 24:1-2

Obubaka bwa Yoswa Obusembayo

24 (A)Awo Yoswa n’akuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, n’ayita abakadde ba Isirayiri n’abakulembeze, abalamuzi era n’abakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Mukama. (B)Yoswa n’agamba abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala w’omugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala.

Yoswa 24:11-28

11 (A)“ ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu b’omu Yeriko awamu n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abagirusi, n’Abakiivi, n’Abayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe. 12 (B)Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. 13 (C)Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala by’emizabbibu n’emizeeyituuni bye mutaasimba.’

14 (D)“Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda. 15 (E)Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”

16 Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala. 17 Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu. 18 Mukama Katonda n’agoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.”

19 (F)Yoswa n’agamba abantu nti, “Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wa buggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe. 20 (G)Obanga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira n’abazikiriza n’abamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.” 21 Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda, tunaweerezanga Mukama.” 22 (H)Yoswa n’agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”

23 (I)N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.” 24 (J)Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.”

25 (K)Awo Yoswa n’akola endagaano n’abantu ku lunaku olwo, n’abakolera amateeka n’ebiragiro. 26 (L)Era n’awandiika ebintu bino mu kitabo ky’amateeka ekya Katonda, n’atwala ejjinja eddene ennyo n’aliteeka wansi w’omwera ogwali mu kifo kya Mukama Katonda ekitukuvu. 27 (M)Yoswa n’agamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”

28 Yoswa n’asindika abantu bagende, buli omu mu mugabo gwe.

Abaruumi 3:9-22

Tewali mutuukirivu n’omu

(A)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10 Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

“Tewali mutuukirivu n’omu.
11     Tewali ategeera
    wadde anoonya Katonda.
12 (B)Bonna baakyama,
    bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
    tewali n’omu.”
13 (C)“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
    n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14     (D)“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16     buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18     (E)“N’okutya tebatya Katonda.”

19 (F)Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya. 20 (G)Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.

Obutuukirivu buva mu Kukkiriza

21 (H)Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi. 22 (I)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.