Old/New Testament
Oluyimba nga balinnya amadaala.
129 (A)Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 (B)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 (C)kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5 (D)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6 (E)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 (F)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (G)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (H)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (I)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (J)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5 (K)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6 (L)Emmeeme yange erindirira Mukama;
mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7 (M)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
era y’alina okununula okutuukiridde.
8 (N)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
mu byonoono bye byonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (O)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (P)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (Q)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
11 (A)Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.
Okubikka ku mutwe mu kusinza
2 (B)Mbatenda nnyo Olw’okunzijjukiza mu bintu byonna era n’olw’okunyweza ebyo bye nabayigiriza. 3 (C)Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, n’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo. 4 Noolwekyo omusajja yenna bw’asaba oba bw’ayogera eby’obunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe. 5 (D)N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri. 6 Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako. 7 (E)Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja. 8 (F)Kubanga omusajja teyatondebwa ng’aggibwa mu mukazi, wabula omukazi ow’olubereberye ye yaggyibwa mu musajja. 9 (G)Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw’omusajja. 10 Kale olw’ensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti afugibwa era ne bamalayika bakirabe. 11 Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne. 12 (H)Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.
13 Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe. 14 Obuzaaliranwa tebubalaga ng’omusajja bw’aba n’enviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa, 15 ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako. 16 (I)Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.