Old/New Testament
1 (A)Awo Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti, 2 (B)“Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri[a]. 3 (C)Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo. 4 (D)Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba. 5 (E)Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.
6 (F)“Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe. 7 (G)Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga. 8 (H)Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana. 9 (I)Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”
10 Bw’atyo ne Yoswa n’alagira abakulembeze b’Abayisirayiri nti, 11 (J)“Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa.’ ”
12 (K)Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti, 13 (L)“Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’ 14 Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira, 15 (M)okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”
16 Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna by’otukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gy’onootusindika. 17 (N)Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa. 18 Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
Abakessi Baweerezebwa e Yeriko
2 (O)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko[b].” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo. 2 Naye kabaka wa Yeriko n’akitegeera nti waliwo abasajja Abayisirayiri abazze ekiro okuketta ensi ye. 3 Bw’atyo kabaka oyo n’atumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.”
4 (P)Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye n’alyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava. 5 Oluggi lw’ekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.” 6 (Q)So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba by’obugoogwa. 7 Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani.
8 Abakessi bwe baali tebanneebaka, Lakabu n’ayambuka gye baali ku nju waggulu 9 (R)n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo. 10 (S)Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani. 11 (T)Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.” 12 (U)N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe n’obukakafu 13 nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu n’abo bonna be babeera nabo.” 14 (V)Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ng’atuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”
15 (W)Olw’okubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe w’ekibuga, bw’atyo n’abasizza ku muguwa ng’abayisa mu ddirisa. 16 (X)Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ng’ababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.” 17 (Y)Ne bamugamba nti, “Tujja kukuuma butiribiri ekirayiro kyaffe 18 (Z)era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna. 19 (AA)Gwe kalitanda n’afuluma mu nju yo n’atambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna y’alimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe. 20 Naye k’olituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.” 21 Lakabu y’abaddamu n’abagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula n’asiba akawero akamyufu mu ddirisa.
Abakessi Beddirayo Ewaabwe
22 Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga n’ababanoonya bababuliddwa, 23 ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda. 24 (AB)Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”
Abayisirayiri Beeteekerateekera Okusomoka Omugga Yoludaani
3 (AC)Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka. 2 (AD)Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu 3 (AE)nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera, 4 kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”
5 (AF)Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola ebyamagero mu mmwe.” 6 Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.
Mukama Asuubiza Yoswa
7 (AG)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe. 8 (AH)Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.” 9 Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe. 10 (AI)Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba. 11 (AJ)Laba, Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama w’ensi zonna y’eneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani. 12 (AK)Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu: 13 (AL)Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”
Mukama Ayisa Abayisirayiri mu Mugga Yoludaani
14 (AM)Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama. 15 (AN)Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. 16 (AO)Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. 17 (AP)Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.
16 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. 2 Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana. 3 (B)Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.
4 Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo. 5 (C)Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!
6 (D)Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. 7 (E)Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”
8 Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.
Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene
9 (F)Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu. 10 Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga. 11 (G)N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!
Yesu Alabikira Abayigirizwa Ababiri
12 (H)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo. 13 Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.
Yesu Alabikira Abayigirizwa be Ekkumi n’Omu
14 (I)Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.
15 (J)N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. 16 (K)Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. 17 (L)Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. 18 (M)Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”
Yesu Atwalibwa mu Ggulu
19 (N)Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20 Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.