Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 14-15

14 Awo Mukama n’alagira Musa nti, (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri bawetemu nga boolekera Pikakirosi, bakube eweema zaabwe okumpi ne Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja. Musiisire ku lubalama lw’ennyanja nga mwolekedde Baali Zefoni. Falaawo abaana ba Isirayiri ajja kuboogerako nti, ‘Babulubuutira mu nsi yaffe, n’eddungu libazingizza.’ (B)Nzija kukakanyaza omutima gwa Falaawo, alyoke abawondere. Naye ndyefunira ekitiibwa okuva ku bye ndikola Falaawo n’eggye lye lyonna; n’Abamisiri balitegeera nga nze Mukama.” Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo.

Falaawo Awondera Isirayiri

Kabaka w’e Misiri bwe yategeera ng’Abayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo n’abakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?” Bw’atyo n’ateekateeka eggaali lye erisikibwa embalaasi, n’eggye ly’anaagenda nalyo. Yatwala amagaali lukaaga agasingira ddala obulungi, n’agattako n’amagaali amalala gonna agaali mu Misiri, n’abalwanyi abaduumizi nga be bagavuga. (C)Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo Kabaka w’e Misiri, n’agoberera abaana ba Isirayiri. Abaana ba Isirayiri ne bakwata olugendo lwabwe nga tebaliiko gwe batya. (D)Abamisiri ne babawondera: embalaasi zonna, n’amagaali gonna aga Falaawo agasikibwa embalaasi, n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lye, ne babasanga nga basiisidde ku lubalama lw’ennyanja okumpi ne Pikakirosi, nga boolekedde Baali Zefoni.

10 (E)Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isirayiri ne balengera Abamisiri nga babagoberera, ne batya nnyo. Abaana ba Isirayiri ne balaajaanira Mukama. 11 (F)Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti? 12 Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”

13 (G)Musa n’addamu abantu nti, “Temutya, munywere, mujja kulaba obulokozi Mukama bw’anaabaleetera olwa leero. Kubanga Abamisiri abo be mulaba kaakano, temuliddayo nate kubalaba emirembe gyonna. 14 (H)Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”

15 Mukama n’agamba Musa nti, “Lwaki okaabirira nze? Lagira abaana ba Isirayiri bakwate olugendo lwabwe. 16 (I)Wanika omuggo gwo, ogolole n’omukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu. 17 (J)Nange nzija kukakanyaza emitima gy’Abamisiri, bayingirire ennyanja nga babagoberera. Ndyoke nefunire ekitiibwa okusinziira ku bye nnaakola Falaawo, n’amaggye ge, n’amagaali ge, n’abeebagadde embalaasi. 18 Abamisiri nabo banaategeera nga nze Mukama, nga nefunidde ekitiibwa: okusinziira ku bye nnaakola Falaawo n’amagaali ge, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.”

19 (K)Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri n’akyuka n’abadda emabega; n’empagi ey’ekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, n’eyimirira emabega waabwe: 20 Bw’etyo n’ebeera wakati w’abaana ba Isirayiri n’eggye ly’Abamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lw’Abamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lw’Abayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo.

Okuyita mu Nnyanja Emyufu

21 (L)Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu. 22 (M)Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.

23 Abamisiri ne babawondera ne bayingira wakati mu nnyanja n’amagaali ga Falaawo gonna, n’embalaasi ze, n’abasajja be abeebagadde embalaasi. 24 (N)Awo mu makya ennyo nga tebunnalaba, Mukama n’atunuulira eggye ly’Abamisiri ng’ali mu mpagi ey’ekire n’omuliro, n’atandika okulibonyaabonya. 25 (O)Amagaali gaabwe yagamaamulako zinnamuziga, ne gabakaluubirira okuvuga. Abamisiri n’okugamba ne bagamba nti, “Leka Abayisirayiri tubadduke! Kubanga Mukama alwanyisa Misiri ng’abalwanirira.”

26 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.” 27 (P)Bw’atyo Musa n’agololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya n’ekomawo n’amaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri n’abasaanyaawo wakati mu nnyanja. 28 Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali n’omu ku bo eyawona.

29 (Q)Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono. 30 (R)Bwe kityo ku lunaku olwo Abayisirayiri Mukama n’abawonya Abamisiri. Abayisirayiri ne balaba Abamisiri ku lubalama lw’ennyanja nga bafudde. 31 (S)Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ng’akola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama n’omuweereza we Musa.

Oluyimba lwa Musa

15 (T)Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,

“Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
    embalaasi n’omwebagazi waayo.
(U)Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.
Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,
    ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.
(V)Mukama mulwanyi;
    MUKAMA, ly’erinnya lye.
(W)Amagaali ga Falaawo n’eggye lye
    abisudde mu nnyanja;
n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu
    basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
(X)Obuziba bubasaanikidde;
    basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.

(Y)“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwalina amaanyi n’ekitiibwa;
omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwasesebbula omulabe.
(Z)Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,
    wamegga abalabe bo,
wabalaga obusungu bwo,
    ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
(AA)Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,
    amazzi ne geetuuma;
    amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.

(AB)“Omulabe n’ayogera nti,
    ‘Ka mbagobe, mbakwate.
Nnaagabana omunyago;
    mbeemalireko eggoga.
Nnaasowolayo ekitala kyange,
    ndyoke mbazikirize.’
10 (AC)Naye wakunsa embuyaga zo,
    ennyanja n’ebasaanikira.
Bakka ng’ekyuma,
    ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.
11 (AD)Ani akufaanana, Ayi Mukama,
    mu bakatonda bonna?
Ani akufaanana, ggwe,
    Omutukuvu Oweekitiibwa,
atiibwa era atenderezebwa,
    akola ebyamagero?

12 “Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
    ensi n’ebamira.
13 (AE)Mu kwagala kwo okutaggwaawo,
    abantu be wanunula olibakulembera.
Mu maanyi go,
    olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14 (AF)Amawanga galikiwulira ne gakankana,
    ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
15 (AG)Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;
    abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;
abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
16     (AH)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
    balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
    lwe baliyitawo.
17 (AI)Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,
    kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,
ekifo kyo Ekitukuvu,
    kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.
18 Mukama anaafuganga
    emirembe n’emirembe.”

Oluyimba lwa Miryamu

19 (AJ)Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20 (AK)Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21 (AL)Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,

“Muyimbire Mukama,
    kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
    embalaasi n’agyebagadde.”

Amazzi g’e Mala n’aga Erimu

22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23 (AM)Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24 (AN)Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”

25 (AO)Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.

Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 (AP)ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

27 (AQ)Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.

Matayo 17

Okufuusibwa kwa Yesu

17 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu. N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana. Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.

Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”

(A)Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”

Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo. (B)Yesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, “Mugolokoke temutya.” Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!

(C)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”

10 Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?”

11 (D)Yesu n’abaddamu nti, “Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna. 12 (E)Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa.” 13 Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.

Omusimbu Awonyezebwa

14 Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti, 15 (F)“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. 16 Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”

17 Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” 18 Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.

19 Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”

20 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa. 21 Naye kyokka dayimooni ow’engeri eno tagobeka awatali kusaba na kusiiba.”

22 (H)Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu 23 (I)abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.

Omusolo gwa Yeekaalu

24 (J)Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”

25 (K)Peetero n’abaddamu nti, “Awa!”

Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”

26 Peetero n’addamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.” 27 (L)“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri,[a] ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.