Old/New Testament
Yakobo Asabira Batabani be Omukisa
49 (A)Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.
2 (B)Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,
muwulirize Isirayiri kitammwe.
3 (C)Lewubeeni ggwe mubereberye wange,
amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,
ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.
4 (D)Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,
mu nnyumba yange, n’okyonoona.
5 (E)Simyoni ne Leevi baaluganda,
ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
6 (F)Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.
Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.
Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,
olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
7 (G)Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.
Ndibaawula mu Yakobo,
ndibasaasaanya mu Isirayiri.
8 (H)Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.
Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.
Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.
9 (I)Yuda, mwana w’empologoma.
Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
10 (J)Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
okutuusa Siiro lw’alijja;
era oyo amawanga gonna
gwe ganaawuliranga.
11 Alisiba endogoyi ku muzabbibu,
n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,
ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,
n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.
12 Amaaso ge galimyuka wayini,
n’amannyo ge galitukula okusinga amata.
13 (K)Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
anaabanga mwalo gw’amaato,
ensalo ze ziriba ku Sidoni.
14 (L)Isakaali ndogoyi ya maanyi,
ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;
15 yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
nga n’ensi esanyusa;
n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,
n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.
16 (M)Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be
ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.
17 (N)Ddaani anaaba musota mu kkubo,
essalambwa ku kkubo,
eriruma ebisinziiro by’embalaasi,
omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.
18 (O)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.
19 (P)Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,
naye ye, alibafubutukira emabega.
20 (Q)Aseri emmere ye eneebanga ngimu,
era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.
21 (R)Nafutaali mpeewo ya ddembe,
avaamu ebigambo ebirungi.
22 (S)Yusufu lye ttabi eribala ennyo,
ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;
abaana be babuna bbugwe.
23 (T)Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
baamulasa ne bamulumya nnyo;
24 (U)naye omutego gwe ne gunywera,
n’emikono gye ne gitasagaasagana.
Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,
olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
25 (V)olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,
omukisa oguva waggulu mu ggulu,
omukisa ogwa wansi mu buziba,
omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
26 (W)Omukisa gwa kitaawo
gusinga omukisa gwa bajjajjange,
gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.
Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,
gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.
27 (X)Benyamini musege ogunyaga,
mu makya alya omuyiggo,
mu kawungeezi n’agaba omunyago.
28 Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.
Okufa kwa Yakobo
29 (Y)Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 (Z)mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31 (AA)Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32 Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”
33 (AB)Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.
50 (AC)Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera. 2 (AD)Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri; 3 (AE)baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.
4 Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti, 5 (AF)‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”
6 Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”
7 Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna, 8 n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. 9 N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.
10 (AG)Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu. 11 Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
12 Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13 (AH)Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be. 14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.
15 (AI)Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.” 16 Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti 17 tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.
18 (AJ)Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.” 19 (AK)Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda? 20 (AL)Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa. 21 (AM)Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.
Okufa kwa Yusufu
22 (AN)Awo Yusufu n’abeera mu Misiri, ye n’ennyumba ya kitaawe. N’awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 23 (AO)N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.
24 (AP)Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.” 25 (AQ)Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”
26 (AR)Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.
Olugero lw’Akaweke ka Kaladaali n’olw’Ekizimbulukusa
31 (A)N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. 32 (B)Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”
33 (C)N’abongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”
34 (D)Bino byonna Yesu yabyogerera mu ngero eri ebibiina era teyayogera gye bali awatali ngero. 35 (E)Ekyayogerwa nnabbi ne kiryoka kituukirira nti,
“Ndyogerera mu ngero,
njogere ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.”
Okunnyonnyola Olugero lw’Eŋŋaano y’omu Nsiko
36 (F)Awo bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu g’olugero lw’omuddo ogwali mu nnimiro.
37 (G)N’abannyonnyola ng’agamba nti, “Omwana w’Omuntu ye yasiga ensigo ennungi. 38 (H)Ennimiro y’ensi, n’ensigo ennungi be baana b’obwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. 39 (I)Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika.
40 “Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. 41 (J)Omwana w’Omuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, n’abajeemu, 42 (K)babasuule mu nkoomi y’omuliro. Omwo mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji. 43 (L)Naye abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.
44 (M)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa[a] mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.
45 (N)“Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, 46 bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.
Olugero lw’Akatimba
47 (O)“Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, 48 akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. 49 (P)Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. 50 (Q)Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”
51 Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?”
Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”
52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”
Yesu Bamwegana e Nazaaleesi
53 (R)Awo Yesu bwe yamala okugera engero ezo n’avaayo, 54 (S)n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe n’ayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. N’abeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi n’ebyamagero ebyo?” 55 (T)Ne beebuuza nti, “Ono si ye mutabani w’omubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda. 56 Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?” 57 (U)Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba y’ewaabwe.”
58 Era yakolerayo ebyamagero bitono olw’obutakkiriza bwabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.