Old/New Testament
Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba
18 Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, 2 “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” 3 Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. 4 Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.
5 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 6 (A)“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. 7 (B)Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, 8 (C)era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. 9 (D)Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 (E)era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.
11 (F)“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 12 (G)Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”
13 (H)Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,
“Mwebuuzeeko mu mawanga.
Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
akoze ekintu eky’ekivve.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni
gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 (I)Naye ate abantu bange banneerabidde,
banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 (J)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 (K)Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”
18 (L)Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”
19 Ompulirize, Ayi Mukama,
owulirize abampakanya kye bagamba.
20 (M)Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
ne nkaaba ku lwabwe,
nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 (N)Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
abasajja baabwe battibwe;
abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 (O)Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
era bateze ebigere byange emitego.
23 (P)Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.
Olugero lw’Ensumbi Eyayatika
19 (Q)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona, 2 (R)ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza. 3 (S)Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu. 4 (T)Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango. 5 (U)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako. 6 (V)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.
7 (W)“ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko. 8 (X)Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna. 9 (Y)Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’
10 (Z)“Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba, 11 (AA)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula. 12 Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi. 13 (AB)Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”
14 (AC)Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti, 15 (AD)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”
Ennaku ez’Oluvannyuma
3 (A)Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. 2 (B)Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, 3 nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, 4 (C)nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; 5 nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.
6 (D)Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, 7 abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima, 8 (E)nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu. 9 (F)Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.
10 (G)Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange, 11 (H)n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna. 12 (I)Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga. 13 (J)Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula. 14 (K)Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali. 15 (L)Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. 16 (M)Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, 17 (N)omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.