Old/New Testament
Ababaka Okuva e Babulooni
39 (A)Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye. 2 (B)Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
3 (C)Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”
Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”
4 N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”
Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
5 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba: 6 (D)Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama. 7 (E)N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”
8 (F)Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”
Ebigambo eby’Essuubi
40 (G)Mugumye, mugumye abantu bange,
bw’ayogera Katonda wammwe.
2 (H)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
olw’ebibi bye byonna.
3 (I)Eddoboozi ly’oyo ayogera
liwulikika ng’agamba nti,
“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,
mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 (J)Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.
N’obukyamu buligololwa,
ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 (K)Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 (L)Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”
Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 (M)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
Mazima abantu muddo.
8 (N)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 (O)Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 (P)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
buli muntu afune nga bw’akoze.
11 (Q)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 (R)Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
oba n’apima ensozi ku minzaani,
n’obusozi ku kipima?
13 (S)Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama?
Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 (T)Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi,
era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu?
Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga,
n’okumanya n’okutegeera?
15 Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,
era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,
apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 (U)N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe,
n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 (V)Amawanga gonna ag’omu nsi
gabalibwa mu maaso ge,
gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
18 (W)Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 (X)Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 (Y)Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 (Z)Temunnamanya,
temunnawulira,
temubuulirwanga
okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 (AA)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 (AB)Afuula abafuzi obutaba kintu,
afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 (AC)Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
biba byakasigibwa,
biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 (AD)“Kale mulinfaananya ani,
ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 (AE)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
tewali na kimu kibulako.
27 (AF)Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
“Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 (AG)Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 (AH)Awa amaanyi abazirika,
n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 (AI)Abavubuka bazirika, bakoowa,
n’abalenzi bagwira ddala.
31 (AJ)Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
Ebiragiro Ebirala
4 Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. 2 (A)Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga 3 (B)nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. 4 Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. 5 (C)Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. 6 (D)Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.
7 (E)Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. 8 (F)Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, 9 (G)awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.
10 (H)Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 12 (I)Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 13 (J)Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 14 (K)Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 15 (L)Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.
16 (M)Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.
17 (N)Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
18 Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.