Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 28-29

Zikusanze Efulayimu

28 (A)Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu,
    zikusanze ekimuli ekiwotoka[a] eky’obulungi bw’ekitiibwa kye,
ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,
    Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.
(B)Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala,
    ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza,
ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba,
    bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.
(C)Engule ey’amalala ey’abatamiivu ba Efulayimu
    aligibetenta n’ebigere bye.
(D)Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye
    ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu,
kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka,
    era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.

(E)Mu biro ebyo Mukama Katonda ow’Eggye
    aliba ngule ya kitiibwa,
engule ennungi
    ey’abantu be abaasigalawo.
(F)Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya
    oyo atuula n’asala emisango,
Aliba nsibuko ya maanyi
    eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.

(G)Ne bano nabo batagala olw’omwenge,
    era bawabye olw’ekitamiiza;
Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,
    era bawabye olw’omwenge;
bawabye olw’ekitamiiza,
    batagala ne bava mu kwolesebwa,
    era tebasalawo nsonga.
(H)Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye,
    tewakyali kifo kiyonjo.

(I)“Ani gw’agezaako okuyigiriza?
    Ani gw’annyonnyola obubaka bwe?
Abaana abaakalekayo okuyonka
    oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
10 Kubanga kola okole, kola okole
    Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
    Wano katono na wali katono.”
11 (J)Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo
    n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
12 (K)abo be yagamba nti,
    Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye,
era kye kifo eky’okuwerera
    naye ne bagaana okuwuliriza.
13 (L)Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali
    kola okole, kola okole,
    ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
    wano katono na wali katono,
balyoke bagende bagwe kya bugazi,
    era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.

14 (M)Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi,
    mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
15 (N)Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.”

16 (O)Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja,
    ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda,
ery’omuwendo, okuba omusingi;
    oyo alyesiga taliterebuka.
17 (P)Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima,
    n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza,
era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba,
    n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.
18 (Q)N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka,
    n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera.
Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja,
    kiribagwira.
19 (R)Weewaawo buli lwe kinaayitanga,
    kinaabagwiranga
    buli lukya emisana n’ekiro.”

Era okutegeera obubaka buno
    kirireeta ntiisa njereere.
20 (S)Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako,
    ne bulangiti nnyimpi okwebikka.
21 (T)Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu,
    era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni,
alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa,
    atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
22 (U)Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera.
Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye
    ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.

23 Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange;
    Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba.
24 Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata?
    Alima bw’ayimirira n’atema amavuunike mu ttaka?
25 (V)Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino?
    Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo,
ne sayiri mu kibanja kyayo,
    n’omukyere mu nnimiro yaagwo?
26 Katonda we amuwa ebiragiro,
    n’amuyigiriza ekkubo etuufu.

27 Empinnamuti teziwuulibwa na luso,
    newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali.
Empinnamuti zikubibwa na muggo
    ne kumino n’ekubibwa n’oluga.
28 Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati,
    So n’omuntu tagiwuula butamala.
Newaakubadde ng’agitambulizaako nnamuziga w’eggaali lye eriwuula,
    Embalaasi ze si zeezigisa.
29 (W)Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye,
    ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo,
    asinga amagezi.

Zikusanze Ekibuga kya Dawudi

29 (X)Zikusanze ggwe Alyeri[b],
    Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu,
yongera omwaka ku mwaka,
    n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.
(Y)Wabula ndizingiza Alyeri,
    alikuba ebiwoobe era alikungubaga,
    era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.
(Z)Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna,
    era ndikwetoolooza eminaala,
    ne nkusaako ebifunvu.
(AA)Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka,
    n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu.
Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka,
    n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.

(AB)Naye abalabe bo abangi
    baliba ng’enfuufu eweweddwa,
n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi
    bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
(AC)Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
    mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
    ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
(AD)Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba,
    birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza;
kiriba ng’ekirooto,
    ng’okwolesebwa mu kiro
(AE)ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya
    naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala;
oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa
    naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta.
Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna
    agalwana n’Olusozi Sayuuni.

(AF)Muwuniikirire era mwewuunye
    Muzibirire era muzibe amaaso;
Batamiire, naye si na nvinnyo,
    batagala, naye si lwa mwenge.
10 (AG)Mukama akuwadde otulo tungi,
    azibye amaaso gammwe bannabbi,
    era abisse emitwe gyammwe abalabi.

11 (AH)Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”

13 (AI)Mukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
    ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
    naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
    biragiro abantu bye baayigiriza.
14 (AJ)Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.
    Amagezi g’abagezi galizikirira,
n’okutegeera kw’abategeevu
    kuliggwaawo.”
15 (AK)Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola
    okukweka Mukama enteekateeka zaabwe,
abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,
    “Ani atulaba? Ani alimanya?”
16 (AL)Mufuula ebintu
    ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.
Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,
    “Teyankola”?
Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,
    “Talina ky’amanyi”?

17 (AM)Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
18 (AN)Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,
    n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
19 (AO)Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,
    n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
20 (AP)Weewaawo asinga obubi aliggwaawo,
    n’omunyoomi alibula,
    n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
21 (AQ)abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,
    abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,
    ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.

22 (AR)Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,

Yakobo taliddayo kuswazibwa,
    n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
23 (AS)Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
    balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
    era baliyimirira
    ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
24 (AT)Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,
    n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.

Abafiripi 3

Obutuukirivu obwa Nnama ddala

Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza. (A)Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri. (B)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. (C)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, (D)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.

(E)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. (F)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, (G)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (H)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (I)nga nsuubira nga nange ndizuukira.

12 (J)Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune. 13 (K)Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. 14 (L)Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.

15 (M)Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira. 16 Naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.

17 (N)Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga. 18 (O)Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo, 19 (P)era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. 20 (Q)Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. 21 (R)Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.