Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 6-7

Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru

(A)Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,
    ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,
    ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,
    kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:
Yanguwa, ogende weetoowaze,
    weegayirire muliraanwa wo.
(B)Amaaso go togaganya kwebaka,
    wadde ebikowe byo okubongoota.
(C)Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,
    era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.

(D)Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
    fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
Tebirina mukulembeze,
    mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
(E)kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
    ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

(F)Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
    Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 (G)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
    n’okufunya emikono okuwummulako,
11 (H)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
    era n’obwetaavu ng’omutemu.

Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi

12 Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi
    agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13 (I)agenda atemyatemya ku liiso,
    nga bw’akuba ebigere
    ate nga bw’asongasonga olunwe,
14     (J)olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,
    bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15 (K)Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,
    mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.

Okulabula ku Bibi Omusanvu

16 Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,

weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.

17 (L)Amaaso ag’amalala,

emimwa egirimba,

okuttira abantu obwereere;

18 (M)omutima ogutegeka okukola ebibi,

ebigere ebyanguwa okukola ebibi,

19 (N)obujulizi obw’obulimba,

n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.

Okulabula Ku Bwenzi

20 (O)Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
    era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 (P)Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
    era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22 Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
    ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
    ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 (Q)Kubanga amateeka ttabaaza,
    era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
    ly’ekkubo ery’obulamu,
24 (R)okukuwonya omukazi ow’ebibi,
    okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
    wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 (S)kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
    era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
    ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
    ebigere bye ne bitasiriira?
29 (T)Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
    buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.

30 Abantu tebasekerera muntu bw’abba,
    olw’okwewonya enjala.
31 (U)Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;
    ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32 (V)Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;
    kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33 (W)Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;
    n’obuswavu tebulimusangulibwako.

34 (X)Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,
    era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.
35 (Y)Talikkiriza mutango gwonna,
    wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.

Emitawaana Egiva mu Kukwana Omukazi Omwenzi

(Z)Mutabani nyweeza ebigambo byange,
    era okuumenga ebiragiro byange.
(AA)Kwata ebiragiro byange obeere mulamu,
    n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
(AB)togalekanga kuva mu ngalo zo,
    gawandiike ku mutima gwo.
Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko,
    n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
(AC)Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
    omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.

Lumu nnali nnyimiridde
    ku ddirisa ly’ennyumba yange.
(AD)Ne ndaba mu bavubuka abatoototo,
    omulenzi atalina magezi,
ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
    n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
(AE)olw’eggulo ng’obudde buzibye,
    ekizikiza nga kikutte.

10 Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
    ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
11 (AF)Omukazi omukalukalu,
    atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12 (AG)wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
    mu buli kafo konna ng’ateega!
13 (AH)N’amuvumbagira, n’amunywegera
    era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:

14 (AI)“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
    leero ntukiriza obweyamo bwange.
15 Noolwekyo nzize okukusisinkana,
    mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16 Obuliri bwange mbwaze bulungi
    n’engoye eza linena ava mu Misiri.
17 (AJ)Mbukubye n’akaloosa,
    n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18 (AK)Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
    leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19 Kubanga baze taliiyo eka;
    yatambula olugendo luwanvu:
20 Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
    era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”

21 (AL)Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
    n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
22 (AM)Amangwago omuvubuka n’amugoberera
    ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
23     (AN)okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
    so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.

24 (AO)Kaakano nno batabani bange mumpulirize,
    era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
25 (AP)Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
    temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26 Kubanga bangi bazikiridde,
    ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
27 (AQ)Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
    nga likka mu bisenge eby’okufa.

2 Abakkolinso 2

(A)Kino nakimalirira munda mu nze obutakomawo nate eyo nneme okubanakuwaza. (B)Kubanga bwe nnaabanakuwaza, ani anansanyusa wabula oyo gwe nnaanakuwaza? (C)Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna. (D)Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi n’okunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.

(E)Bwe wabaawo eyanakuwaza munne, teyanakuwaza nze, si kulwa nga mbazitoowerera mwenna. (F)Omuntu ng’oyo ekibonerezo ekyamuweebwa abangi kimumala; (G)kyekiva kisaana mmwe okumusonyiwa n’okumuzzaamu amaanyi si kulwa ng’ennaku emuyitirirako n’emuyinga obungi. Noolwekyo mbakuutira okwongera okumukakasa nti mumwagala. (H)Kyennava mbawandiikira ndyoke ntegeere obanga muli bawulize mu nsonga zonna. 10 Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo. 11 (I)Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.

Pawulo mu Tulowa

12 (J)Bwe natuuka mu Tulowa olw’enjiri ya Kristo, Mukama n’anzigulirawo oluggi, 13 (K)saawumula mu mutima gwange, bwe ssaalaba owooluganda Tito. Bwe namala okubasiibula ne ndaga e Makedoniya.

Obuwanguzi mu Kristo

14 (L)Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna. 15 (M)Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. 16 (N)Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola? 17 (O)Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.