Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 74-76

Zabbuli ya Asafu.

74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
(B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

(C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
(D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
(E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
(F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

(G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

75 (U)Tukwebaza, Ayi Katonda.
    Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
    Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
    era nsala omusango gwa bwenkanya.
(V)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
    naye nze nywezezza empagi zaayo.”
(W)Nalabula ab’amalala bagaleke,
    n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
    n’okwogera nga muduula.

Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
    era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
(X)wabula biva eri Katonda;
    era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
(Y)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
    ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
    ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

(Z)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
    nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (AA)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
    naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(AB)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(AC)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(AD)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(AE)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(AF)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(AG)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(AH)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (AI)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (AJ)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Abaruumi 9:16-33

16 (A)Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. 17 (B)Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.” 18 (C)Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.

19 (D)Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? 20 (E)Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” 21 (F)Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?

22 (G)Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. 23 (H)Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. 24 (I)Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. 25 (J)Ne mu Koseya agamba nti,

“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,
    Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”

26 (K)Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti,

“Temuli bantu bange,
    mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”

27 (L)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
    ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 (M)Kubanga Mukama alisalawo
    era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”

29 (N)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,

“Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
    era twandifaananye nga Ggomola.”

Obutakkiriza bw’Abayudaaya

30 (O)Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 (P)naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? 32 (Q)Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, 33 (R)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[a]
    n’olwazi olulibasuula.
    Oyo amukkiriza taliswazibwa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.