Old/New Testament
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6 (F)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7 (G)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8 (H)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 (I)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
11 (J)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
64 (K)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2 (L)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3 (M)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4 (N)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5 (O)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
ne bateesa okutega emitego mu kyama;
ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6 Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
“Tukoze enteekateeka empitirivu.”
Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7 Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8 (P)Ebyo bye boogera biribaddira,
ne bibazikiriza,
ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9 (Q)Olwo abantu bonna ne batya,
ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10 (R)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
era yeekwekenga mu ye.
Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
65 (S)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
2 (T)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
3 (U)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
n’otutangiririra.
4 (V)Alina omukisa oyo gw’olonda
n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
5 (W)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
abali ewala mu nnyanja zonna,
6 (X)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
n’ozinyweza n’amaanyi go,
7 (Y)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
8 Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
9 (Z)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
okuwa abantu emmere ey’empeke,
kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (AA)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (AB)Amalundiro gajjula ebisibo,
n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.
Okuba Abalamu mu Kristo
6 (A)Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? 2 (B)Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? 3 (C)Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? 4 (D)Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
5 (E)Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. 6 (F)Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. 7 Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.
8 Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye 9 (G)Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 (H)Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.
11 (I)Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. 12 Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. 13 (J)Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda. 14 (K)Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.
Baddu ba butuukirivu
15 Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. 16 (L)Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. 17 (M)Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. 18 (N)Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.
19 (O)Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu. 20 (P)Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu. 21 (Q)Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa. 22 (R)Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. 23 (S)Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.