Old/New Testament
45 (A)“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
emiryango eminene gireme kuggalwawo.
2 (B)Ndikukulembera
ne ntereeza ebifo ebigulumivu.
Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo
ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
3 (C)Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu
era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama
olyoke omanye nga nze Mukama,
Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
4 (D)Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange
kyenvudde nkuyita erinnya,
ne nkuwa ekitiibwa
wadde nga tonzisaako mwoyo.
5 (E)Nze Mukama, tewali mulala.
Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
wadde nga tonzisaako mwoyo,
6 (F)balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
tewali mulala.
7 (G)Nze nteekawo ekitangaala
ne ntonda ekizikiza.
Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.
8 (H)“Mmwe eggulu eriri waggulu,
mutonnyese obutuukirivu.
Ebire bitonnyese obutuukirivu.
Ensi egguke n’obulokozi bumeruke,
ereete obutuukirivu.
Nze Mukama nze nagitonda.
9 (I)“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti,
‘Wazaala ki?’
Oba nnyina nti,
‘Kiki ky’ozadde?’
11 (J)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri
era Omutonzi we nti,
‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,
oba ebikwata ku baana bange,
oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
12 (K)Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
13 (L)Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu
era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
14 (M)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”
15 (N)Ddala oli Katonda eyeekweka,
ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 (O)Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 (P)Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama
n’obulokozi obutaliggwaawo.
Temuukwatibwenga nsonyi,
temuuswalenga emirembe gyonna.
18 (Q)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 (R)Soogereranga mu kyama,
oba mu nsi eyeekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,
‘Munoonyeze bwereere.’
Nze Mukama njogera mazima,
mbuulira ebigambo eby’ensonga.
20 (S)“Mwekuŋŋaanye mujje,
mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.
Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,
abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 (T)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
tewali mulala wabula nze.
22 (U)“Mudde gye ndi, mulokoke,
mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,
kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 (V)Neerayiridde,
ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
na buli lulimi lulirayira!
24 (W)Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”
Bonna abaamusunguwalira
balijja gy’ali nga baswadde.
25 (X)Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu
era mwe liryenyumiririza.
Bakatonda b’e Babulooni
46 (Y)Beri avunnama,
Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2 (Z)Bikutamye byonna bivuunamye.
Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3 (AA)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 (AB)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5 (AC)“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6 (AD)Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
ne bagwa wansi ne basinza.
7 (AE)Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
N’ayimirira awo,
n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8 (AF)“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.
Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9 (AG)Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
Kubanga nze Katonda, teri mulala.
Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 (AH)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.
Omusajja[a] ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.
Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.
Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 (AI)Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,
abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 (AJ)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
tebuli wala.
N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
3 (A)Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene. 2 Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, 3 (B)waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. 4 (C)Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. 5 (D)Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.
Lipoota ya Timoseewo ezzaamu amaanyi
6 (E)Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. 7 Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. 8 (F)Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. 9 (G)Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10 (H)Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.
11 Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12 (I)Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13 (J)alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.