Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 19-21

19 (A)Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
    asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.

(B)Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,
    n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.

Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,
    kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.

(C)Obugagga buleeta emikwano mingi,
    naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.

(D)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
    era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.

(E)Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
    era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.

(F)Baganda b’omwavu bonna bamwewala,
    mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala?

Wadde abagoberera ng’abeegayirira,
    naye tabalaba.

(G)Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,
    n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.

(H)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
    n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.

10 (I)Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,
    kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?

11 (J)Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,
    era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.

12 (K)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
    naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.

13 (L)Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,
    n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.

14 (M)Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
    naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

15 (N)Obugayaavu buleeta otulo tungi,
    n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.

16 (O)Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,
    naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.

17 (P)Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,
    era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

18 (Q)Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,
    oleme kumuwaayo mu kuzikirira.

19 Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe,
    kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.

20 (R)Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,
    oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.

21 (S)Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
    byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.

22 Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,
    okuba omwavu kisinga okuba omulimba.

23 (T)Okutya Mukama kutuusa mu bulamu;
    olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.

24 (U)Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,
    n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.

25 (V)Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye,
    buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.

26 (W)Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,
    aleeta obuswavu n’obuyinike.

27 Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa,
    onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.

28 (X)Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima,
    n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.

29 (Y)Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi,
    n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.

20 (Z)Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,
    era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.

(AA)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
    n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.

(AB)Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo,
    naye buli musirusiru ayagala okuyomba.

Omugayaavu talima mu budde butuufu,
    kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.

Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba,
    naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.

(AC)Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,
    naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?

(AD)Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;
    ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.

(AE)Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango,
    amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.

(AF)Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,
    ndi mulongoofu era sirina kibi?”

10 (AG)Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
    byombi bya muzizo eri Mukama.

11 (AH)Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,
    obanga birongoofu era nga birungi.

12 (AI)Okutu okuwulira n’eriiso eriraba
    byombi Mukama ye y’abikola.

13 (AJ)Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,
    tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.

14 “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula;
    naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.

15 Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri,
    naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.

16 (AK)Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi,
    kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.

17 (AL)Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya,
    naye emufuukira amayinja mu kamwa.

18 (AM)Kola entegeka nga weebuuza ku magezi,
    bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.

19 (AN)Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama,
    noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.

20 (AO)Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,
    ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.

21 Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka,
    ku nkomerero tebiba na mukisa.

22 (AP)Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!”
    Lindirira Mukama alikuyamba.

23 (AQ)Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
    ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.

24 (AR)Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,
    omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?

25 (AS)Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,
    naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.

26 (AT)Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi,
    n’ababonereza awatali kusaasira.

27 Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,
    n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.

28 (AU)Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu,
    era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.

29 (AV)Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,
    envi kye kitiibwa ky’abakadde.

30 (AW)Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi,
    n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.

21 Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama,
    era agukyusiza gy’ayagala yonna.

(AX)Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge,
    naye Mukama apima omutima.

(AY)Okukola ebituufu n’eby’amazima
    kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.

(AZ)Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala,
    ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.

(BA)Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere,
    naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.

(BB)Okufuna obugagga n’olulimi olulimba,
    mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.

Obukambwe bw’ababi bulibamalawo,
    kubanga bagaana okukola eby’ensonga.

(BC)Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu,
    naye ery’abataliiko musango liba golokofu.

(BD)Okusula ku kasolya k’ennyumba,
    kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.

10 Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi;
    talaga muliraanwa we kisa n’akatono.

11 (BE)Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna;
    n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.

12 (BF)Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,
    era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.

13 (BG)Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,
    naye alikoowoola nga talina amwanukula.

14 (BH)Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,
    n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.

15 (BI)Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu,
    naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.

16 (BJ)Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera,
    agukira mu bafu.

17 (BK)Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo
    ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.

18 (BL)Abakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi,
    n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.

19 (BM)Okubeera mu ddungu,
    kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.

20 Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo,
    naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.

21 (BN)Agoberera obutuukirivu n’ekisa,
    alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.

22 (BO)Omuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige,
    era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.

23 (BP)Afuga akamwa ke n’olulimi lwe,
    yeewoonya emitawaana.

24 (BQ)“Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga,
    abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.

25 (BR)Okwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe,
    kubanga emikono gye tegyagala kukola.

26 (BS)Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako,
    naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.

27 (BT)Ssaddaaka y’omubi ya muzizo,
    na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.

28 (BU)Omujulizi ow’obulimba alizikirira,
    naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.

29 Omuntu omubi yeekazaakaza,
    naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.

30 (BV)Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso
    ebiyinza okulemesa Mukama.

31 (BW)Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo,
    naye obuwanguzi buva eri Mukama.

2 Abakkolinso 7

(A)Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Essanyu lya Pawulo

(B)Mutuggulirewo emitima gyammwe, kubanga tewali n’omu gwe twasobya. Tewali n’omu gwe twakyamya. Tewali n’omu gwe twali tulyazaamaanyizza. (C)Bino sibyogera ng’abasalira omusango, kubanga nabategeeza dda nti, Mulina ekifo mu mitima gyaffe, nga tubeera balamu ffenna era nga tufiira wamu nammwe. (D)Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzamu nnyo; muŋŋumizza nnyo omwoyo ne mundeetera essanyu lingi wakati mu kubonaabona kwange.

(E)Bwe twatuuka mu Makedoniya tetwasobola kuwummulako, nga twetooloddwa ebibonoobono ebya buli ngeri, ebweru nga waliyo entalo ate munda mu ffe nga tutidde. (F)Naye Katonda agumya abo ababa batendewereddwa, n’atuzzaamu amaanyi olw’okutuuka kwa Tito. Okujja kwe si kwe kwokka okwatuleetera essanyu, naye n’amawulire agafa gye muli, ge yatuleetera n’engeri ennungi gye mwamwanirizaamu, ne bwe yantegeeza nga bwe mwali mwesunga okujja kwange, n’ennaku gye mwalina bwe mwategeera nga sikyazze, n’obunyiikivu bwammwe, ebyo ne binnyongera essanyu!

(G)Kuba bwe kiba nga ddala ebbaluwa gye nnabawandiikira yabanakuwaza, sikyejjusa; wabula ddala nkyejjusa, kubanga ebbaluwa eyo yabanakuwazaamu ekiseera kitono. Kaakano nnina essanyu, si lwa kubanga yabanakuwaza, naye lwa kubanga mwanakuwalira ekibi ne mwenenya, ne Katonda n’alaba okunakuwala kwammwe muleme okufiirwa ekigambo kyonna ku lwaffe. 10 (H)Kubanga okunakuwala okw’okwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okw’ensi kuleeta kufa. 11 (I)Kubanga laba okunakuwala okwo Katonda kw’asiima kwabaleetera okwewala bino: okufuba ennyo, n’okwennyonnyolako, n’okusunguwala, n’okutya, n’okwegomba, n’okufuba ennyo okwenenya, n’okuwalana eggwanga. Mwakola kyonna kye musobola okulongoosa ekyasoba. 12 (J)Kale newaakubadde nga nabawandiikira ssawandiika ku lw’oyo eyakola ekibi, newaakubadde oyo gwe bakikola, wabula lwa kunyiikira kwammwe eri Katonda ku lwaffe. 13 (K)Noolwekyo ebyo byatuzzaamu endasi.

Bwe twaddamu endasi, tweyongera nnyo okusanyuka olw’essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna. 14 (L)Obanga nnenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe, temwanswaza, naye byonna nga bwe twabibategeeza bwe biri eby’amazima, era n’okwenyumiriza kwaffe ku Tito nakwo ne kuba kwa mazima. 15 (M)N’okwagala kw’alina kweyongera nnyo gye muli ng’ajjukira okugonda kwammwe mwenna, nga bwe mwamusembeza n’okutya n’okumussaamu ekitiibwa. 16 (N)Bino byonna bindeetera essanyu lingi, era mbesigira ddala.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.