Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 8-9

Amagezi Gakoowoola

(A)Amagezi tegakoowoolera waggulu,
    n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,
    mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
(B)ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,
    ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
Mmwe abantu, mmwe b’empita;
    nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
(C)Mmwe abatategeera mufune okutegeera;
    nammwe abasirusiru mufune amagezi.
Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,
    era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
(D)Akamwa kange koogera bituufu byereere;
    kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya
    tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,
    era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 (E)Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,
    era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 (F)kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,
    era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.

12 (G)Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
    era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 (H)Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
    nkyawa amalala n’okwemanya,
    n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 (I)Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
    ntegeera era ndi wa buyinza.
15 (J)Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,
    abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 Abalangira bafuga ku bwange,
    n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 (K)Njagala abo abanjagala,
    n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 (L)Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,
    obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 (M)Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,
    n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
    mu kkubo ery’obwenkanya,
21 (N)n’abo abanjagala mbagaggawaza
    era nzijuza amawanika gaabwe.

22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka
    nga tannabaako kirala ky’akola.
23 Nateekebwawo dda nnyo,
    ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 (O)Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,
    nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 (P)ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,
    nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 (Q)nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,
    wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 (R)Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,
    ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28 ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,
    n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 (S)bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
    amazzi galeme kusukka we yagalagira,
    ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 (T)Nnali naye ng’omukozi omukugu,
    nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku,
    nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 (U)nga nsanyukira mu nsi ye yonna,
    era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.

32 (V)Kale nno, batabani bange mumpulirize;
    balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
33 Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,
    so temugalekanga.
34 (W)Alina omukisa omuntu ampuliriza,
    alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange
    buli lunaku.
35 (X)Kubanga buli andaba afuna obulamu,
    era afuna okuganja eri Mukama.
36 (Y)Oyo atannoonya yeerumya yekka,
    era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.

Empagi z’Amagezi Omusanvu

(Z)Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
    gagizimbidde ku mpagi musanvu.
(AA)Gategese ennyama yaago ne wayini[a] waago;
    gategese ekijjulo.
(AB)Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere
    mu bifo ebigulumivu nti,
(AC)“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”
    Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
(AD)“Mujje mulye ku mmere yange
    era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
(AE)Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,
    era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”

(AF)Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,
    n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
(AG)Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye
    nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
(AH)Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,
    yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.

10 (AI)“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
    era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11 (AJ)Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,
    era olyongerwako emyaka.
12 Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,
    naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”

13 (AK)Omukazi omusirusiru aleekaana,
    taba na mpisa era taba na magezi!
14 (AL)Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye,
    ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15 ng’akoowoola abo abayitawo,
    ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16 Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.”
    Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17 (AM)“Amazzi amabbe nga gawooma!
    emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18 (AN)Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira,
    era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.

2 Abakkolinso 3

(A)Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala? (B)Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna, ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.

(C)Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo. (D)Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, (E)oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Ekitiibwa ekiri mu ndagaano empya

(F)Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa? (G)Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa. 10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino. 11 Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.

12 (H)Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi, 13 (I)so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako. 14 (J)Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo. 15 Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka. 16 (K)Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo. 17 (L)Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe. 18 (M)Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.