Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 140-142

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.

Zabbuli Ya Dawudi.

141 (N)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
    Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
(O)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
    n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
    era bwe njogera onkomeko.
(P)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
    n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
    wadde okulya ku mmere yaabwe.

(Q)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
    muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
    sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
    Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
    olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
(R)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
    n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”

(S)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
    mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
(T)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
    n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (U)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

142 (V)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
    neegayirira Mukama ansaasire.
(W)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
    ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

(X)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
    gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
(Y)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
    sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

(Z)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
    nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
    ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

(AA)Owulire okukaaba kwange,
    kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
    kubanga bansinza nnyo amaanyi.
(AB)Nziggya mu kkomera,
    ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
    ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

1 Abakkolinso 14:1-20

Ebirabo eby’Omwoyo

14 (A)Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi. (B)Kubanga ayogera mu nnimi tayogera n’abantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali n’omu ategeera by’agamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo. (C)Naye oyo ategeeza abantu eby’obunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era n’okubazzaamu amaanyi. (D)Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera eby’obunnabbi azimba ekibiina kyonna eky’abakkiriza. (E)Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere eby’obunnabbi, kubanga ayogera eby’obunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.

(F)Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda by’ambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba eby’obunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa. Era n’ebivuga ebitalina bulamu, ng’endere oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi gategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa? (G)Era singa omufuuyi w’eŋŋombe tafuuwa ddoboozi Iitegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? Mu ngeri y’emu, bwe mwogera n’omuntu mu lulimi lw’atamanyi, asobola atya okutegeera kye mugamba? Muba mwogeredde bwereere. 10 Weewaawo waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era zonna zirina amakulu. 11 Naye omuntu bw’ayogera olulimi lwe simanyi, aba ng’omugwira gye ndi, nange mba ng’omugwira gy’ali. 12 Bwe mutyo nga bwe mwegomba okufuna ebirabo eby’Omwoyo, mufubenga nnyo mulyoke musobole okuzimba Ekkanisa ya Kristo.

13 Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula. 14 Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa. 15 (H)Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda n’omwoyo gwange awamu n’amagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu n’amagezi gange. 16 (I)Kubanga bw’otendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera ky’ogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ng’omaliriza okwebaza, ng’ebigambo ebyebazizza tabitegedde? 17 Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa.

18 Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna. 19 Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere n’amagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.

20 (J)Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.