Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 103-104

Zabbuli Ya Dawudi.

103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
    ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
    era teweerabiranga birungi bye byonna.
(B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
    n’awonya n’endwadde zo zonna.
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
    era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
(C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
    ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

(D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
    n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
(E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
(F)Taasibenga busungu ku mwoyo,
    era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (G)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
    wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (H)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
    n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (I)Ebibi byaffe abituggyako
    n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

13 (J)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
    ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 (K)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
    era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 (L)Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
    akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 (M)empewo ekifuuwa, ne kifa;
    nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
    emirembe gyonna,
    n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 (N)Be bo abakuuma endagaano ye
    ne bajjukira okugondera amateeka ge.

19 (O)Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
    n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

20 (P)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
    mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
    era abagondera ekigambo kye.
21 (Q)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
    mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 (R)Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
    ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
104 (S)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
    ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

(T)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
    n’abamba eggulu ng’eweema,
    (U)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
(V)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

(W)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(X)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(Y)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(Z)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

10 (AA)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
    ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
    n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (AB)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
    ne biyimbira mu matabi.
13 (AC)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
    ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (AD)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
    n’ebirime abantu bye balima,
    balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (AE)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
    n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
    n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
    gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (AF)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
    ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (AG)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
    n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19 (AH)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
    n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (AI)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
    olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (AJ)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
    nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (AK)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
    ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (AL)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
    ne bakola okutuusa akawungeezi.

24 (AM)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (AN)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (AO)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (AP)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (AQ)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (AR)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (AS)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AT)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (AU)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AV)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AW)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

1 Abakkolinso 2

(A)Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. (B)Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. (C)Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. (D)Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, (E)okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Amagezi ga Katonda

(F)Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (G)tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (H)Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Eriiso bye litalabangako,
    n’okutu bye kutawulirangako,
n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako
    Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

10 (I)Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda. 11 (J)Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. 12 (K)Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, 13 (L)era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo. 14 (M)Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. 15 Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.

16 (N)“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama,
    era ani alimulagira?

Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.