Old/New Testament
Owoomukwano
4 (A)Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi.
Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse.
Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi
eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.
2 (B)Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya,
nga ziva okunaazibwa.
Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
so tewali eri yokka.
3 (C)Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu;
n’akamwa ko kandabikira bulungi.
Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko
gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.[a]
4 (D)Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi,
ogwatereezebwa obulungi;
ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi,
zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
5 (E)Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo,
ab’empeewo, nga balongo,
abaliira mu malanga.
6 (F)Okutuusa obudde nga bukedde,
n’ebisiikirize nga biweddewo,
ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli
ne ku kasozi ak’omugavu.
7 (G)Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
toliiko bbala na limu.
8 (H)Jjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange,
jjangu tuve mu Lebanooni.
Lengera okuva ku ntikko ya Amana,
n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni,
n’okuva mu mpuku ey’empologoma,
ne ku nsozi ez’engo.
9 (I)Osenzesenze omutima gwange,
mwannyinaze, omugole wange;
otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye,
n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10 (J)Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange,
okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo,
n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11 (K)Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange;
amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo.
Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 (L)Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
era oli luzzi olwasibibwa[b], ensulo eyateekebwako akabonero.
13 (M)Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
erina ebibala byonna eby’omuwendo,
ne kofera n’emiti egy’omugavu
14 (N)n’omugavu ne kalikomu,
ne kalamo ne kinamoni,
n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
ne mooli ne alowe,
wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Oli nsulo ya nnimiro,
oluzzi olw’amazzi amalamu,
olukulukuta okuva mu Lebanooni.[c]
Omwagalwa
16 (O)Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono,
naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu.[d]
Mukuntire ku nnimiro yange,
akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna,
Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye,
alye ebibala byamu eby’omuwendo.
Owoomukwano
5 (P)Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;
nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.
Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,
Nywedde wayini wange n’amata gange.
Abemikwano
Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
Omwagalwa
2 (Q)Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.
Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,
“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,
owe wange ataliiko bbala,
kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
3 Nziggyeko ekkooti yange,
nnaagyambala ntya nate?
Nanaabye ebigere,
nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
4 Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,
omutima gwange ne gubuukabuuka.
5 (R)Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,
emikono gyange nga gitonnya mooli,
n’engalo zange nga zikulukuta mooli,
ku minyolo gy’ekufulu.
6 (S)Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,
naye muganzi wange ng’avuddewo,
yeetambulidde.
Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.
Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
7 (T)Abakuumi baansanga
bwe baali nga balawuna mu kibuga;
baankuba, ne bandeetako ebinuubule,
ne batwala n’ekyambalo kyange,
abasajja abo abakuuma bbugwe.
8 (U)Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
gy’ali bwe kunzita.
Abemikwano
9 (V)Owange, kiki muganzi wo ky’alina
kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?
Kiki muganzi wo kyasinza abalala
n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?
Omwagalwa
10 (W)Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,
atabula ne mu bantu omutwalo.
11 Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;
n’enviiri ze zirimu amayengo,
era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12 (X)Amaaso ge gali ng’amayiba
ku mabbali g’emigga egy’amazzi,
agaanaazibwa n’amata,
ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13 (Y)Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,
obuleeta akaloosa akalungi.
Emimwa gye giri ng’amalanga
agakulukuta mooli.
14 (Z)Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu
egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.
Omubiri gwe guli ng’amasanga
amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15 (AA)Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
omulungi ng’emivule gyayo.
16 (AB)Enjogera ye mpomerevu,
weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
mmwe abawala ba Yerusaalemi.
Kukkiriza Oba Kukuuma Mateeka
3 (A)Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo eyakomererwa ku musaalaba ne mukitegeera? 2 (B)Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa eby’amateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 3 Muyinza mutya obutaba na magezi kutuuka awo, abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri? 4 Okubonaabona kwonna kwe mwabonaabona kwali kwa bwereere? Bwe kuba nga ddala kwa bwereere. 5 (C)Abawa Omwoyo n’abawa n’okukola eby’amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa by’amateeka oba lwa kuwulira olw’okukkiriza? 6 (D)Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.
7 (E)Kale mumanye nti abo abakkiriza be baana ba Ibulayimu. 8 (F)Olw’okuba nga baategeera ebiribaawo n’ekyawandiikibwa, ng’olw’okukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.” 9 (G)Noolwekyo abo abakkiriza bagabanira wamu omukisa ne Ibulayimu eyakkiriza.
10 (H)Naye abo abafugibwa ebikolwa eby’amateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, akolimiddwa.” 11 (I)Kimanyiddwa bulungi nti tewali n’omu Katonda gw’awa butuukirivu olw’okukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza, 12 (J)naye amateeka tegeesigama ku kukkiriza, naye anaagagobereranga anaabeeranga mulamu mu go. 13 (K)Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” 14 (L)Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky’Omwoyo olw’okukkiriza.
Etteeka n’Ekisuubizo
15 Abooluganda njogera mu buntu; endagaano bw’eba ng’ekakasibbwa, tewabaawo agiggyawo newaakubadde agyongerako. 16 (M)Katonda yasuubiza Ibulayimu n’Omwana we, naye tekigamba nti n’abaana be ng’abangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo. 17 (N)Kye ŋŋamba kye kino: endagaano eyakakasibwa Katonda nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu n’efuuka etteeka, teyadibya ekyo ekyasuubizibwa. 18 (O)Kuba oba ng’obusika bwesigamye ku mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo; naye yabuwa Ibulayimu olw’okusuubiza.
19 (P)Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya. 20 (Q)Naye omutabaganya si w’omu, naye Katonda ali omu.
21 (R)Amateeka galwanagana n’ebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu. 22 (S)Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olw’okukkiriza mu Yesu Kristo.
23 (T)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (U)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.
Baana ba Katonda
26 (V)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (W)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (X)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.