Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 41-42

Amaanyi ga Lukwata

41 (A)“Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo,
    oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
(B)Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo,
    oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa?
    Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?
(C)Eneekola naawe endagaano
    ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?
Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi,
    oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?
Abasuubuzi banaagiramuza,
    oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo,
    oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira,
    toliddayo kukikola!
Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu,
    okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.
10 (D)Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga.
    Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?
11 (E)Ani alina kye yali ampoze musasule?
    Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.

12 “Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike,
    amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.
13 Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu?
    Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?
14 Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo?
    Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.
15 Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo
    ezisibiddwa okumukumu.
16 Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
17     Zakwatagana,
    ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.
18 (F)Bw’eyasimula, ebimyanso bijja,
    n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
19 Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka.
    Kavaamu ensasi ez’omuliro.
20 Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka
    ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
21 (G)Omukka oguva mu nnyindo zaayo
    gukoleeza Amanda.
22 Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi,
    n’entiisa eri mu maaso gaayo.
23 Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse;
    gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.
24 Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi,
    kigumu ng’olubengo.
25 Bwesituka ab’amaanyi batya.
    Badduka olw’okubwatuka kwayo.
26 Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako,
    oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
27 Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro,
    ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.
28 Akasaale tekayinza kugiddusa,
    amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.
29 Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri.
    Esekerera amafumu agakasukibwa.
30 (H)Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa.
    Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.
31 Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera.
    Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.
32 Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru;
    ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.
33 (I)Tewali kigyenkana ku nsi;
    ekitonde ekitatya.
34 (J)Enyooma buli kisolo.
    Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”

Yobu Yeenenya nga Yeeyiyeeko Enfuufu ne Vvu

42 Awo Yobu n’addamu Mukama nti,

(K)“Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna,
    era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
(L)Wabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’
    Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera,
    ebintu ebyassukirira okutegeera kwange.

(M)“Wulira nkwegayiridde,
    nange mbeeko kye nkubuuza,
    onziremu.
(N)Amatu gange gaali gaakuwulirako dda,
    naye kaakano amaaso gange gakulabye.
(O)Kyenvudde neenyooma
    era neenenyezza mu nfuufu ne mu vvu.”

(P)Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze. (Q)Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.” Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.

10 (R)Awo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka. 11 (S)Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu.

12 Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi. 13 Era Mukama n’amuwa n’abaana aboobulenzi musanvu, n’aboobuwala basatu. 14 Omuwala ow’olubereberye n’amutuuma Yemima, n’owokubiri n’amutuuma Keeziya, n’owookusatu n’amutuuma Keremukappuki, n’aboobulezi musanvu. 15 Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe n’abawa omugabo ogw’ebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.

16 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana; n’alaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe. 17 (T)N’oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala ng’awezezza emyaka mingi.

Ebikolwa by’Abatume 16:22-40

22 (A)Ekibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. 23 (B)Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri. 24 (C)Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.

25 (D)Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza, 26 (E)amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! 27 (F)Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette! 28 Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”

29 Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana. 30 (G)Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”

31 (H)Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” 32 Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 33 (I)Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. 34 (J)Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.

35 Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” 36 (K)Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”

37 (L)Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”

38 (M)Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. 39 (N)Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. 40 (O)Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.