Old/New Testament
Ekiragiro kya Daliyo
6 (A)Awo kabaka Daliyo n’awa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni. 2 Awo omuzingo gw’ekitabo ogwawandiikibwamu ekijjukizo ne guzuulibwa mu kibuga ekikulu Yakumesa eky’essaza ly’e Bumeedi nga kigamba nti:
Ekiwandiiko:
3 (B)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti:
Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27), 4 (C)ng’erina embu ssatu ez’amayinja amanene, n’olubu olulala nga lwa mbaawo. Omuwendo gwonna gwakusasulibwa okuva mu gwanika lya kabaka. 5 (D)Ate era n’ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda.
6 (E)Kale nno, Tattenayi ow’essaza ery’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi, n’abakungu abeeyo mwewale okutabulatabula. 7 Temuyingirira mulimu ogukolebwa ku yeekaalu ya Katonda eyo. Muleke ow’essaza ly’Abayudaaya n’abakulu b’Abayudaaya bazzeewo ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo.
8 (F)Ate era nteeka etteeka erikwata ku bye muteekwa okukolera abakulu abo ab’Abayudaaya nga bazimba yeekaalu ya Katonda:
Ebirikozesebwa abasajja abo byonna, bya kusasulibwa okuva mu ggwanika lya Kabaka, ku misolo egiva emitala w’omugga Fulaati, omulimu guleme okuyimirira. 9 (G)Bwe baliba beetaaze okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w’eggulu, oba nte nnume ento, oba ndiga nnume, oba ndiga nnume ento, oba ŋŋaano, oba munnyo, oba nvinnyo, oba mafuta, muteekwa okuwa bakabona ab’omu Yerusaalemi byonna nga bwe baliba basabye buli lunaku obutayosa, 10 (H)basobole okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda w’eggulu, era basabire kabaka ne batabani be.
11 (I)Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era n’awanikibwa ku mpagi eyo. N’ennyumba ye erifuulibwa olubungo olw’ekikolwa ekyo. 12 (J)Katonda eyaleetera Erinnya lye okubeera mu kifo ekyo, aggyewo kabaka yenna n’eggwanga eririyimusa omukono gwalyo okukyusa etteeka eryo oba n’okuzikiriza eyeekaalu eyo mu Yerusaalemi.
Nze Daliyo ntaddewo etteeka eryo. Likwatibwe butiribiri.
Yeekaalu eggwa okuzimbibwa
13 (K)Olw’ekiragiro kabaka Daliyo kye yaweereza, Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne bakola bye baalagibwa n’obunyiikivu bwonna. 14 (L)Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali. 15 (M)Awo yeekaalu eyo n’emalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw’omwezi Adali, mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo.
Okutukuza Yeekaalu
16 (N)Awo abantu ba Isirayiri, bakabona n’Abaleevi n’abalala abaali mu buwaŋŋanguse ne bakomawo mu ssanyu ne bakola embaga ey’okutukuza ennyumba ya Katonda nga balina essanyu. 17 (O)Olw’okutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, n’endiga ennume ebikumi bibiri, n’endiga ennume ento ebikumi bina, ate n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ng’omuwendo bwe gwali ogw’ebika bya Isirayiri. 18 (P)Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe n’Abaleevi mu biti byabwe olw’okuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
Embaga ey’Okuyitako
19 (Q)Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye, abawaŋŋaangusibwa baafumba embaga ey’Okuyitako. 20 (R)Bakabona n’Abaleevi baali beetukuzizza era bonna nga balongoofu okukola emikolo. Abaleevi ne batta omwana gw’endiga ogw’Okuyitako, ku lwa baganda baabwe bakabona, nabo bennyini. 21 (S)Awo Abayisirayiri abaava mu buwaŋŋanguse ne bagirya wamu n’abo bonna abaali beeyawudde, nga basinza Mukama Katonda wa Isirayiri. 22 (T)Ne bamala ennaku musanvu nga balya n’essanyu Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, kubanga Mukama yabajjuza essanyu bwe yakyusa omutima gwa kabaka w’e Bwasuli, n’abayamba mu mulimu ogw’ennyumba ya Katonda wa Isirayiri.
Ezera Akomawo e Yerusaalemi
7 (U)Awo oluvannyuma lw’ebyo, mu biro eby’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Kirukiya, 2 (V)muzzukulu wa Sallumu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Akitubu, 3 muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Merayoosi, 4 muzzukulu wa Zerakiya, muzzukulu wa Uzzi, muzzukulu wa Bukki, 5 muzzukulu wa Abisuwa, muzzukulu wa Finekaasi, muzzukulu wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona asinga obukulu, 6 (W)n’ava e Babulooni. Yali munnyonnyozi w’amateeka mukugu mu mateeka, Mukama Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka n’amuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa Mukama Katonda we gwali wamu naye. 7 (X)Abamu ku bantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abaaweerezanga mu yeekaalu, ne bagenda wamu naye e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi.
8 N’atuuka mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka oyo. 9 (Y)Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye. 10 (Z)Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya Mukama, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri.
Ebbaluwa Kabaka Alutagizerugizi gye yawandiikira Ezera
11 Eno ye kopi ey’ebbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omusomesa, omusajja eyali omukugu mu nsonga ez’amateeka n’ebiragiro bya Mukama eri Isirayiri.
12 (AA)Alutagizerugizi, kabaka wa bakabaka,
Eri Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu:
Nkulamusizza.
13 Nteeka etteeka nga buli muntu ow’omu ggwanga lya Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, awulira okugenda e Yerusaalemi naawe, ayinza okugenda. 14 (AB)Otumiddwa kabaka n’abakungu be omusanvu ab’oku ntikko okugenda okunoonyereza ku bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi nga mugoberera etteeka lya Katonda wammwe, lye mumanyi obulungi. 15 (AC)Bwe muba nga mugenda mutwale effeeza ne zaabu kabaka n’abakungu be bye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isirayiri, atuula mu Yerusaalemi, 16 (AD)awamu n’effeeza ne zaabu yonna gye muliggya mu ssaza lya Babulooni, n’ebiweebwayo eby’obuwa abantu ne bakabona bye baliwaayo ku lwa yeekaalu ya Katonda waabwe mu Yerusaalemi. 17 (AE)Ensimbi ezo mulizikozesa okugula ente ennume, n’endiga ennume, n’abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byako eby’obutta, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa era munaabiweerangayo ku kyoto eky’omu yeekaalu ya Katonda wammwe mu Yerusaalemi.
18 Ggwe ne baganda bo Abayudaaya, kye mulisiima okukolamu effeeza ne zaabu erifikkawo kiriva gye muli ng’okusiima kwa Katonda wammwe bwe kuli. 19 (AF)Ebintu byonna ebibaweereddwa okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe mubiwangayo olw’okusinza Katonda wa Yerusaalemi. 20 (AG)N’ekintu ekirala kyonna kye muliba mwetaaze okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe, kinaggyibwanga mu ggwanika lya kabaka.
21 Kaakano, nze kabaka Alutagizerugizi nteeka etteeka nga ndagira abawanika bonna abali mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati okuwanga Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu, by’anaabasabanga 22 n’okutuusa ku ttani ssatu n’ekitundu eza ffeeza, oba kilo enkumi bbiri mu bibiri ez’eŋŋaano, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’envinnyo, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’amafuta, oba n’omunnyo gwe baliba baagala gwonna. 23 (AH)Ekintu kyonna ekyalagirwa Katonda w’eggulu, kiribaweebwa mu bungi, ku lwa yeekaalu ya Katonda w’eggulu. Kale kiki ekirimuleetera okusunguwalira kabaka ne batabani be? 24 (AI)Ate era mutegeere nga temusaana kuwooza musolo, oba empooza ey’engeri yonna ku kabona yenna newaakubadde Abaleevi newaakubadde abayimbi newaakubadde abakuumi ab’oku nzigi newaakubadde abaweereza ab’omu yeekaalu newaakubadde abaddu abalala ab’omu nnyumba ya Katonda eyo.
25 (AJ)“Naawe, ggwe Ezera, ng’okozesa amagezi Katonda ge yakuwa, londa abaami n’abalamuzi, abanaalamulanga abantu bonna ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, abamanyi amateeka ga Katonda wo, era oyigirize n’abo abatagamanyi. 26 (AK)Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, n’etteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.”
27 (AL)Mukama Katonda w’abajjajjaffe atenderezebwe ayolesezza kabaka okuwa ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi ekitiibwa, 28 (AM)era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’abawi b’amagezi be ab’oku ntikko, n’abakungu ba kabaka bonna, n’olw’omukono gwa Mukama Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.
Amannya g’Abaddayo ne Ezera
8 (AN)Bano be bakulu b’ennyumba, n’abo abeewandiisa n’abo abaayambuka nange okuva e Babulooni mu mulembe gwa kabaka Alutagizerugizi:
2 okuva mu bazzukulu ba Finekaasi,
Gerusomu;
n’okuva mu bazzukulu ba Isamaali,
Danyeri;
n’okuva mu bazzukulu ba Dawudi,
Kattusi 3 (AO)muzzukulu wa Sekaniya,
n’okuva mu bazzukulu ba Palosi,
Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150);
4 (AP)n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu,
Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200);
5 n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya,
mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300);
6 (AQ)n’okuva mu bazzukulu ba Adini,
Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano (50);
7 n’okuva mu bazzukulu ba Eramu,
Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70);
8 n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya,
Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80);
9 n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu,
Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218);
10 n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi,
mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160);
11 n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi,
Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28);
12 n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi,
Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110);
13 (AR)n’okuva mu bazzukulu ba Adonikamu,
abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeyeri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60);
14 n’okuva mu bazzukulu ba Biguvaayi,
Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu (70).
Okuddayo e Yerusaalemi
15 (AS)Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi. 16 Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu, 17 (AT)ne mbatuma eri Iddo omukulu w’ekifo eky’e Kasifiya, ne mbategeeza bye baba bagamba Iddo ne baganda be, abaaweerezanga mu yeekaalu mu kifo ekyo eky’e Kasifiya, batuuweereze abaweereza abaliyamba mu nnyumba ya Katonda waffe. 18 (AU)Olw’omukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana; 19 ne Kasabiya, wamu naye Yesaya omu ku bazzukulu ba Merali, ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja amakumi abiri. 20 (AV)Ate era ne baleeta n’abaweereza ba yeekaalu Dawudi n’abakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza.
21 (AW)Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe. 22 (AX)Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.” 23 (AY)Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era n’addamu okusaba kwaffe.
24 (AZ)Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu, 25 (BA)ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe. 26 Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, n’ebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, 27 ne kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebitundu bibiri eby’ekikomo ebirungi ebizigule, eby’omuwendo nga zaabu.
28 (BB)Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri Mukama, n’ebintu bino bitukuvu eri Mukama. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe. 29 Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu n’Abaleevi, n’abakulu b’ennyumba za Isirayiri.” 30 Awo bakabona n’Abaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, n’ebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi.
31 (BC)Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’olubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, n’atukuuma eri abalabe n’abanyazi mu kkubo. 32 (BD)Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu. 33 (BE)Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi. 34 Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.
35 (BF)Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 36 (BG)Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana[a] n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.
Yesu Alabikira Abayigirizwa be musanvu
21 (A)Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya.[a] Yabalabikira bw’ati: 2 (B)Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu. 3 (C)Simooni Peetero n’abagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.
4 (D)Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.
5 Yesu n’ababuuza nti, “Abaana, mukwasizzaayo?”
Ne baddamu nti, “Nedda.”
6 (E)Yesu n’abagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!
7 (F)Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. 8 Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda. 9 (G)Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.
10 Yesu n’abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano.”
11 Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka. 12 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” Naye ku bayigirizwa tewaali n’omu yategana ku mubuuza nti, “Ggwe ani?” Kubanga bonna baamanya nti ye Mukama waffe. 13 (H)Yesu n’atoola omugaati n’abagabira era n’ebyennyanja n’akola bw’atyo. 14 (I)Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng’amaze okuzuukira.
Yesu Azzaamu Peetero Amaanyi
15 (J)Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?”
Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.”
Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”
16 (K)Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?”
Peetero n’addamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.”
17 (L)Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?”
Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.”
Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange. 18 Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala.” 19 (M)Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
20 (N)Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?” 21 Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”
22 (O)Yesu n’amugamba nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki? Ggwe goberera Nze.” 23 (P)Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki?”
24 (Q)Oyo ye muyigirizwa akakasa bino era ye yabiwandiika. Era tumanyi nga by’ategeeza bya mazima.
Ebifundikira
25 (R)Waliwo n’ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.