Old/New Testament
Ekiragiro ku Bulongoofu bw’Olusiisira
5 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (A)“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu. 3 (B)Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.” 4 Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Etteeka ly’Okuliwa
5 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 6 (C)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango, 7 (D)era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango. 8 (E)Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona. 9 (F)Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo. 10 (G)Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ”
Etteeka ku Bbuba
11 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 12 (H)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba 13 (I)ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola; 14 (J)singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako, 15 (K)kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa[a] eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa.
16 “Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuleeta n’amuyimiriza mu maaso ga Mukama Katonda. 17 Anaddiranga amazzi amatukuvu[b] nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema. 18 (L)Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo. 19 (M)Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’ 20 (N)Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa, 21 (O)wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba. 22 (P)Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’
“Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’
23 (Q)“ ‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo n’abyozaako mu mazzi agakaawa. 24 Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi n’okubonaabona mu mubiri. 25 (R)Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga Mukama Katonda, n’akireeta ku kyoto. 26 Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali. 27 (S)Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe. 28 Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’
29 (T)“ ‘Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba, 30 oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo. 31 (U)Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’ ”
Etteeka ery’Obweyamo obw’Omunnazaalayiti
6 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (V)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti[c], 3 (W)anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo. 4 Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.
5 (X)“Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa. 6 (Y)Ebbanga lyonna ly’anaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri Mukama Katonda, taasembererenga muntu afudde. 7 (Z)Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero ak’obweyamo obw’okweyawula eri Mukama kanaabanga kali ku mutwe gwe. 8 Okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda.
9 (AA)“Omuntu bw’anaafanga ekikutuko ng’aliraanye omuwonge oyo, bw’atyo n’afuula enviiri ze okuba ezitali nnongoofu, kale, anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw’okwerongoosa, lwe lunaku olw’omusanvu. 10 (AB)Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 11 (AC)Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa olw’okumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kw’anaatukulizangako omutwe gwe. 12 Aneewangayo eri Mukama Katonda okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, era anaaleetanga omwana gw’endiga omulume n’aguwaayo ng’ekiweebwayo olw’okusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga ery’obweyamo bwe obw’okweyawula.
13 (AD)“Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 14 (AE)Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe; 15 (AF)n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agafumba; n’obusukuuti obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo eby’ebyokunywa.
16 “Kabona anaabireetanga awali Mukama Katonda, n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa. 17 Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa.
18 (AG)“Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe.
19 “Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze. 20 (AH)Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo.
21 “Eryo lye tteeka ery’Omunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri Mukama Katonda ng’obweyamo bwe obw’okweyawula bwe bunaabanga, ng’agasseeko n’ebirala nga bw’anaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ng’etteeka ly’Omunnazaalayiti bwe liragira.”
Omukisa gwa Kabona
22 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 23 (AI)“Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:
24 (AJ)“ ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
akukuume;
25 (AK)Mukama Katonda akwakize amaaso ge
akukwatirwe ekisa;
26 (AL)Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge
akuwe emirembe.’
27 (AM)“Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.”
Olugero lw’Omusizi
4 (A)Ate era n’atandika okuyigiriza ku lubalama lw’ennyanja. Ekibiina ky’abantu kinene nnyo ne bakuŋŋaana okumwetooloola. Kyeyava alinnya mu lyato n’ayigiriza ng’atudde omwo. 2 (B)Yabayigirizanga ebintu bingi mu ngero. N’abayigiriza ng’agamba nti, 3 (C)“Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo. 4 Bwe yali ng’azimansa ng’asiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5 N’endala ne zigwa ku ttaka ery’ekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu. 6 Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu. 7 Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala. 8 (D)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, n’endala kikumi.”
9 (E)N’abagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.”
10 Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abantu abalala, ne bamubuuza amakulu g’engero ezo ze yabagerera. 11 (F)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”
12 (G)“Balaba bulabi naye nga tebeetegereza,
era n’okuwulira bawulira naye tebategeera,
si kulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
13 “Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza? 14 (H)Omusizi asiga ekigambo y’asiga. 15 (I)Ate ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani n’ajja n’akibatwalako. 16 Ate ensigo ezaagwa ku byaziyazi, gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza n’essanyu. 17 Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo amangwago babivaako. 18 Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, 19 (J)naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. 20 Ettaka eddungi gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, n’abalala kikumi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.