Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Mikka 1-3

(A)Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.

(B)Muwulire mmwe abantu mwenna,
    muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,
Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,
    ng’alina by’abalumiriza.
(C)Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
    ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
(D)N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye
    era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka
ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,
    ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
(E)Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,
    olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.
Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?
    Si ye Samaliya?
Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?
    Si Yerusaalemi?

(F)“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,
    kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.
Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu
    N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
(G)Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;
    ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;
    ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.
Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,
    bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”

Okukaaba n’Okukungubaga

(H)Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,
    ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.
Ndikaaba ng’ekibe,
    ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
(I)Ekiwundu kye tekiwonyezeka,
    ne Yuda ky’alwadde.
Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,
    ne ku Yerusaalemi yennyini.

Omulabe Asemberera Yerusaalemi

10 Temukibuulira mu Gaasi,
    temukaaba maziga n’akatono.
Mwevulungulire mu nfuufu
    mu Besuleyafula.
11 (J)Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde,
    mmwe ababeera mu Safiri.
Ababeera mu Zanani
    tebalifuluma.
Beswezeeri ekuba ebiwoobe,
    kubanga tokyalinayo buddukiro.
12 (K)Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi
    nga balindirira okubeerwa,
kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama,
    ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13 (L)Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi
    mmwe ababeera mu Lakisi.
Mmwe nsibuko y’ekibi
    mu Bawala ba Sayuuni,
kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
14 (M)Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi
    ebirabo ebimusiibula.
Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba
    eri bakabaka ba Isirayiri.
15 (N)Mmwe abantu b’omu Malesa,
    ndibasindikira alibawangula n’abafuga.
Oyo ekitiibwa kya Isirayiri
    alijja mu Adulamu.
16 (O)Mukungubage, n’emitwe mugimwe
    olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
    kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
(P)Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu
    era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;
Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,
    kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
(Q)Beegomba ebyalo ne babitwala,
    ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.
Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,
    ne bamubbako ebyobusika bwe.

(R)Mukama kyava agamba nti,

“Laba, ndireeta akabi ku bantu abo,
    ke mutagenda kweggyamu.
Temuliddayo kubeera n’amalala nate
    kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
(S)Olwo abantu balikusekerera;
    Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti:
‘Tugwereddewo ddala;
    ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu.
Mukama anziggirako ddala ettaka lyange,
    n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”

(T)Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama,
    aligabanyaamu ettaka ku bululu.
(U)Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi,
    Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo;
    tewali kabi kagenda kututuukako.”
(V)Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo?
    Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo?
    Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko
    ng’omulabe.
Basika ne bambula eminagiro emirungi
    ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe,
    ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
(W)Bakazi b’abantu bange mubagoba
    mu mayumba gaabwe amalungi,
abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa
    oguva eri Katonda.
10 (X)Muyimuke mugende,
    kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe;
olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza,
    kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
11 (Y)Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti,
    “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,”
    oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.

12 (Z)“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;
    ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.
Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,
    ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,
    ekifo kirijjula abantu.
13 (AA)Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse,
    abayise mu mulyango abafulumye.
Era kabaka waabwe alibakulembera,
    Mukama alibakulembera.”

Ekibi kya Isirayiri

(AB)Ne ndyoka ŋŋamba nti,

“Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo,
    mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri.
Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
    (AC)mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi;
mmwe ababaagako abantu bange eddiba
    ne mubaggyako ennyama ku magumba?
(AD)Mulya ennyama yaabwe,
    ne mubabaagako eddiba,
    amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya,
era ne mubasalaasala ng’ennyama
    eneefumbibwa mu nsaka.”

(AE)Balikoowoola Mukama,
    naye talibaanukula.
Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge
    olw’ebibi bye bakoze.

(AF)Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Bannabbi ababuzaabuza abantu
    balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa,
naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
(AG)Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
    n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
    n’obudde bubazibirire.
(AH)Abalabi baliswazibwa
    n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
    kubanga Katonda tabaanukula.”

(AI)Naye nze, nzijjudde amaanyi
    n’Omwoyo wa Mukama,
    okwekaliriza ensonga n’obuvumu,
njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola,
    olw’ekibi kya Isirayiri.

(AJ)Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo,
    Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,
Mmwe abanyooma obwenkanya
    Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
10 (AK)mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi,
    Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
11 (AL)Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
    bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
    ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
    Mukama tali naffe?
    Tewali kinaatutuukako.”
12 (AM)Noolwekyo ku lwammwe,
    Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro,
ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu,
    n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.

Okubikkulirwa 11

Abajulizi Ababiri

11 (A)Ne mpeebwa olumuli oluli ng’omuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda n’ekyoto n’abo abasinziza mu Yeekaalu. (B)Naye oluggya olw’ebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42). (C)Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebibukutu ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” (D)Abajulirwa abo ababiri gy’emiti emizeeyituuni ebiri era ebikondo by’ettaala ebibiri, abayimirira mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. (E)Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe n’omuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bw’ayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. (F)Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba n’etetonnya mu nnaku ez’obunnabbi bwabwe, era balina n’obuyinza okufuula amazzi omusaayi n’okuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.

(G)Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte n’okubawangula ebawangule. (H)Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z’ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo (I)Era okumala ennaku ssatu n’ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu n’ebika, n’ennimi, n’amawanga mu nguudo z’ekibuga. Tewali n’omu alikkirizibwa kubaziika. 10 (J)Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza n’okuweerezagana ebirabo, n’okwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.

11 (K)Naye oluvannyuma lw’ennaku essatu n’ekitundu omwoyo gw’obulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba. 12 (L)Awo ne bawulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ng’abalabe baabwe babalaba.

13 (M)Mu ssaawa eyo y’emu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda ow’eggulu.

14 (N)Eky’entiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.

Ekkondeere ery’Omusanvu

15 (O)Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,

“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse
    bwa Mukama waffe ne Kristo we,
    era anaafuganga emirembe n’emirembe.”

16 (P)Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17 (Q)nga bagamba nti,

“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    ggwe aliwo kati era eyaliwo,
kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,
    Era ofuga.
18 (R)Amawanga gaakunyiigira,
    naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo
era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango,
    n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi,
n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo
    abakulu n’abato,
n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”

19 (S)Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.