Old/New Testament
Isirayiri Asalirwa Omusango
5 (A)Muwulire kino mmwe bakabona!
Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!
Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!
Omusango guli ku mmwe:
Mubadde kyambika e Mizupa,
era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
2 (B)Abajeemu bamaliridde okutta,
naye ndibabonereza bonna.
3 (C)Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,
so ne Isirayiri tankisibwa.
Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,
ne Isirayiri yeeyonoonye.
4 (D)Ebikolwa byabwe tebibaganya
kudda eri Katonda waabwe,
kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,
so tebamanyi Mukama.
5 (E)Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6 (F)Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe
okunoonya Mukama,
tebalimulaba;
abaviiridde, abeeyawuddeko.
7 (G)Tebabadde beesigwa eri Mukama;
bazadde abaana aboobwenzi.
Embaga ez’omwezi ogwakaboneka
kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
8 (H)Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
mutukulembere mmwe Benyamini.
9 (I)Efulayimu alifuuka matongo
ku lunaku olw’okubonerezebwa.
Nnangirira ebiribaawo
mu bika bya Isirayiri.
10 (J)Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo
abajjulula ensalo,
era ndibafukako obusungu bwange
ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 (K)Efulayimu anyigirizibwa,
era omusango gumumezze,
kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 (L)Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,
n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.
13 (M)“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,
ne Yuda n’alaba ekivundu kye,
Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,
n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.
Naye tasobola kubawonya
newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 (N)Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,
era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.
Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;
ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 (O)Ndiddayo mu kifo kyange,
okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.
Balinnoonya,
mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”
Obujeemu bwa Isirayiri
6 (P)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
naye ebiwundu alibinyiga.
2 (Q)Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
olwokusatu alituzza buggya,
ne tubeera balamu mu maaso ge.
3 (R)Tumanye Mukama;
tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
4 (S)Nkukolere ki, Efulayimu?
Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
5 (T)Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
6 (U)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7 (V)Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,
tebaali beesigwa.
8 Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,
era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
9 (W)Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,
n’ebibiina bya bakabona
bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,
ne bazza emisango egy’obuswavu.
10 (X)Ndabye eby’ekivve
mu nnyumba ya Isirayiri;
era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,
ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.
11 (Y)“Naawe Yuda,
amakungula gatuuse.
“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,
7 (Z)na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
bamenya ne bayingira mu mayumba,
era batemu abateega abantu mu makubo.
2 (AA)Naye tebalowooza
nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Ebibi byabwe bibazingizza,
era mbiraba.
3 (AB)“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
4 (AC)Bonna benzi;
bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,
omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu
okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
5 (AD)Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,
abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,
kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
6 (AE)Emitima gyabwe gyokerera nga oveni
mu busungu bwabwe;
Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;
mu makya ne bwaka ng’omuliro.
7 (AF)Bonna bookya nga oveni,
era bazikiriza abakulembeze baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;
tewali n’omu ku bo ankowoola.
8 (AG)“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;
Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
9 (AH)Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
naye takiraba.
10 (AI)Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,
naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko
tadda eri Mukama Katonda we
newaakubadde okumunoonya.
11 (AJ)“Efulayimu ali ng’ejjiba,
alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;
bakaabira Misiri,
era bagenda eri Obwasuli.
12 (AK)Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,
era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.
Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13 (AL)Zibasanze,
kubanga bawabye ne banvaako.
Baakuzikirira
kubanga banjemedde.
Njagala nnyo okubanunula,
naye banjogerako eby’obulimba.
14 (AM)Tebankaabira n’emitima gyabwe,
wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
naye ne banjeemera.
15 (AN)Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,
naye bansalira enkwe.
16 (AO)Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;
bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;
abakulembeze baabwe balifa kitala,
olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.
Era kyebaliva babasekerera
mu nsi y’e Misiri.”
Isirayiri Akungula Embuyaga
8 (AP)“Ffuwa ekkondeere.
Empungu eri ku nnyumba ya Mukama
kubanga abantu bamenye endagaano yange
ne bajeemera amateeka gange.
2 Isirayiri bankaabira nga boogera nti,
‘Katonda waffe, tukumanyi.’
3 Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi;
omulabe kyaliva abayigganya.
4 (AQ)Balonda bakabaka nga sikkirizza,
balonda abakulembeze be sikakasizza.
Beekolera ebifaananyi ebyole
mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
5 (AR)Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya.
Obusungu bwange bubabuubuukirako.
Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
6 Bava mu Isirayiri.
Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola
so si Katonda.
Era ennyana eyo eya Samaliya
eribetentebwa.
7 (AS)“Basiga empewo,
ne bakungula embuyaga.
Ekikolo olw’obutaba na mutwe,
kyekiriva kirema okubala ensigo.
Naye ne bwe kyandibaze,
bannaggwanga bandigiridde.
8 (AT)Isirayiri amaliddwawo;
ali wakati mu mawanga
ng’ekintu ekitagasa.
9 Bambuse ne bagenda eri Obwasuli,
ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka.
Efulayimu aguliridde abaganzi.
10 (AU)Newaakubadde nga beetunze eri amawanga,
ndibakuŋŋaanya,
era ndibawaayo eri okubonaabona
nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.
11 (AV)“Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi,
bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
12 Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange,
naye ne babifuula ekintu ekigwira.
13 (AW)Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,
ne balya ennyama yaabyo,
Mukama tabasanyukira.
Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe
n’ababonereza olw’ebibi byabwe:
Baliddayo e Misiri.
14 (AX)Isirayiri yeerabidde omutonzi we,
n’azimba embiri,
ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe;
naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe,
ne gwokya ebigo byabwe.”
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso
2 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.
2 (B)Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 3 (C)Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.
4 (D)Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 5 (E)Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 6 (F)Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti[a] nga nange bwe mbikyawa.
7 (G)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna
8 (H)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 9 (I)nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 (J)Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
11 (K)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo
12 (L)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 (M)nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.
14 (N)Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 (O)Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 (P)Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.
17 (Q)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira
18 (R)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 19 (S)nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.
20 (T)Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 (U)Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 (V)Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 (W)Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.
24 (X)Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 (Y)Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.
26 (Z)Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 (AA)‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 (AB)Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 (AC)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.