Old/New Testament
Okwawula Bakabona
29 “Bino by’onookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, n’endiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo. 2 (A)Era onookola mu buwunga bw’eŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole n’amafuta ag’omuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, n’obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 3 Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu n’ente n’endiga ebbiri. 4 (B)Leeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, obanaaze n’amazzi. 5 (C)Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; 6 (D)omusibe n’ekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala eky’oku mutwe. 7 (E)Ddira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. 8 Leeta batabani be obambaze amakooti, 9 (F)obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.
Ekiweebwayo olw’Ebibi
10 “Onooleeta ente eyo ento mu maaso g’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe, 11 n’olyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 (G)Onoddira omusaayi ogw’ente eyo omutonotono, n’ogusiiga n’olugalo lwo ku mayembe ag’oku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi w’ekyoto. 13 (H)Onoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto. 14 (I)Naye ennyama y’ente eyo n’eddiba lyayo, n’obusa bwayo, byokere ebweru w’olusiisira. Ekyo ky’ekiweebwayo olw’ekibi.
Ekiweebwayo Ekyokye
15 “Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gw’endiga emu; 16 otte endiga eyo, n’oddira omusaayi gwayo n’ogumansa buli wantu ku kyoto. 17 Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe, 18 (J)endiga yonna ogyokere ku kyoto. Ekyo ky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokye, eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweebwayo ku muliro eri Mukama.
Ekiweebwayo ku Kwawulibwa
19 (K)“Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo; 20 onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola. 21 (L)Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe.
22 “Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona. 23 Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere; 24 (M)ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25 Onoobibaggyako, n’obyokera ku kyoto ng’obyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama; kye kiweebwayo eri Mukama ekyokye mu muliro. 26 (N)Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 27 (O)Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be. 28 (P)Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.
29 (Q)“Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga. 30 (R)Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.
Emmere ku Kwawulibwa
31 “Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu; 32 (S)Alooni ne batabani be balye ku nnyama y’endiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 33 (T)Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34 (U)Era singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.
35 “Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bw’onookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu; 36 (V)era buli lunaku ojja kuwaayo seddume y’ente emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, olw’okusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze. 37 (W)Ojja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa
38 (X)“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 39 (Y)Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40 Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41 Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
42 (Z)“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe. 43 (AA)Era awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange.
44 (AB)“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona. 45 (AC)Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe. 46 (AD)Awo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”
Ekyoto ky’Obubaane
30 (AE)“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane. 2 (AF)Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi. 3 Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola. 4 Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa. 5 Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu. 6 (AG)Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.
7 (AH)“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala. 8 Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 9 (AI)Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa. 10 (AJ)Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”
Ebiweebwayo mu Weema ya Mukama
11 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 12 (AK)“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu. 13 (AL)Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama. 14 Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama. 15 (AM)Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe. 16 (AN)Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”
Ebbensani Omunaabirwa
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 18 (AO)“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi. 19 (AP)Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 20 Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro, 21 (AQ)banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Amafuta ag’Okusiiga
22 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 23 (AR)“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu; 24 (AS)ne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri. 25 (AT)Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako. 26 (AU)Olyoke osiige n’amafuta ago Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano, 27 n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane, 28 n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula. 29 (AV)Obyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
30 (AW)“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona. 31 Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. 32 (AX)Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu. 33 (AY)Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’ ”
Ebyakaloosa
34 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, 35 (AZ)Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu. 36 (BA)Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli. 37 (BB)Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama. 38 (BC)Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”
Yesu Abuuzibwa gy’aggya Obuyinza
23 (A)Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”
24 Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’ 26 (B)Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”
27 Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”
Olugero olw’Abaana Ababiri
28 (C)“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’
29 “Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda.
30 “Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.
31 (D)“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?”
Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.”
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 32 (E)Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”
Olugero olw’Abalimi
33 (F)“Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo. 34 (G)Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.
35 (H)“Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36 (I)Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka. 37 Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’
38 (J)“Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’ 39 Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta. 40 Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”
41 (K)Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”
42 (L)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti,
“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Kino kyava eri Mukama
era kya kyewuunyo.’
43 (M)“Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. 44 (N)Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”
45 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako. 46 (O)Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.