Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the New Testament in 24 Weeks

A reading plan that walks through the entire New Testament in 24 weeks of daily readings.
Duration: 168 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yakobo 4-5

Mweweeyo eri Katonda

(A)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. (B)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

(C)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? (D)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala
    naye abawombeefu abawa ekisa.”

(E)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. (F)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. (G)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

11 (H)Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 12 (I)Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

Okulabula ku kwekulumbaza

13 (J)Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” 14 (K)Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 15 (L)Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.” 16 (M)Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 17 (N)Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

Okulabula abagagga

(O)Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. (P)Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. (Q)Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. (R)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. (S)Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. (T)Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.

Okugumiikiriza

(U)Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. (V)Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. (W)Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

10 (X)Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 11 (Y)Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

12 (Z)Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.

Okusaba okw’okukkiriza

13 (AA)Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olw’obuzibu obwo. N’abo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ez’okumutendereza. 14 (AB)Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. 15 Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. 16 (AC)Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

17 (AD)Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! 18 (AE)Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera. 19 (AF)Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama n’ava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo, 20 omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ng’amuleetedde n’okusonyiyibwa ebibi byonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.