Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the New Testament in 24 Weeks

A reading plan that walks through the entire New Testament in 24 weeks of daily readings.
Duration: 168 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Abakkolinso 5-6

(A)Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu. (B)Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu. Kubanga bwe tulyambazibwa, tetulisangibwa nga tuli bwereere. (C)Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu. (D)Oyo eyatuteekerateekera ekintu ekyo kyennyini ye Katonda oyo eyatuwa amazima g’Omwoyo.

Noolwekyo tulina obwesige bulijjo nga tumanyi nti bwe tuba mu mubiri guno, tetuba waffe, olwo nga tetuli na Mukama waffe. (E)Kubanga tutambula lwa kukkiriza so si lw’amaaso gaffe bye galaba. (F)Noolwekyo tuli bagumu era tuli basanyufu, wakiri okuva mu mibiri guno ne tubeera ewaffe mu ggulu ne Mukama waffe. (G)Noolwekyo kyetuva tunoonya oba nga tuli ewaffe oba nga tetuli waffe, tumusanyuse. 10 (H)Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.

Omukwano ne Katonda nga guyita mu Kristo

11 (I)Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe. 12 (J)Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima. 13 (K)Bwe tuwulikika ng’abagudde eddalu olw’ebyo bye tweyogerako, tukikoze ku bwammwe. 14 (L)Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. 15 (M)Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, 16 (N)okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. 17 (O)Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. 18 (P)Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. 19 (Q)Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. 20 (R)Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 21 (S)Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

(T)Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere. (U)Kubanga agamba nti,

“Nakuwulira mu biro ebituufu,
    era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”

Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

Ebizibu bya Pawulo

(V)Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa, naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, (W)ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, (X)ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa, (Y)ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono, (Z)wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima. (AA)Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, 10 (AB)nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.

11 (AC)Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye. 12 Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna. 13 (AD)Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.

14 (AE)Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza? 15 (AF)Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza? 16 (AG)Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti,

“Nnaabeeranga mu bo
    era natambuliranga mu bo,
nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.”
17 (AH)Noolwekyo “muve wakati mu bo,
    mubeeyawuleko,
    bw’ayogera Mukama.
Temukwata ku bitali birongoofu,
    nange nnaabaaniriza.”
18 (AI)Era “nnaabeeranga Kitammwe,
    nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,”
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.