Read the New Testament in 24 Weeks
Ebigwanira omutume ne by’ateekwa okukola
9 (A)Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe? 2 (B)Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe.
3 Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako. 4 (C)Sirina buyinza kulya na kunywa? 5 (D)Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa[a], ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola? 6 (E)Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?
7 (F)Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? 8 Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? 9 (G)Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 10 (H)oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 11 (I)Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 12 (J)Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.
Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo. 13 (K)Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 14 (L)Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.
15 (M)Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa. 16 (N)Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira. 17 (O)Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. 18 (P)Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.
19 (Q)Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 (R)Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 (S)Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 (T)Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.
24 (U)Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 25 (V)Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26 Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 27 (W)Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.
Okulabula ku Bakatonda Abalala
10 (X)Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, 2 bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. 3 Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, 4 (Y)era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo. 5 (Z)Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.
6 Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola. 7 (AA)Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.” 8 (AB)Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. 9 (AC)Era tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. 10 (AD)Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.
11 (AE)Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. 12 (AF)Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa. 13 (AG)Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.
14 Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala. 15 Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo. 16 (AH)Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo? 17 (AI)Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.
18 (AJ)Mulabe Isirayiri ow’omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto? 19 (AK)Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? 20 (AL)Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo. 21 (AM)Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.
22 (AN)Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi? 23 (AO)Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 24 (AP)Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.
25 (AQ)Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 26 (AR)Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.
27 (AS)Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 28 (AT)Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 29 (AU)bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 30 (AV)Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?
31 (AW)Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 32 (AX)Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 33 (AY)Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.