Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the New Testament in 24 Weeks

A reading plan that walks through the entire New Testament in 24 weeks of daily readings.
Duration: 168 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubikkulirwa 21-22

Yerusaalemi Ekiggya

21 (A)Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. (B)Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. (C)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. (D)Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

(E)Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”

(F)N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. (G)Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

(H)Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu eby’enkomerero n’ajja n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole w’Omwana gw’Endiga.” 10 (I)N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, 11 (J)nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ng’ejjinja ery’omuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja. 12 (K)Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ng’aliko emiryango kkumi n’ebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, n’amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo. 13 Ku luuyi olw’ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olw’obugwanjuba nga kuliko emiryango esatu. 14 Bbugwe yaliko amayinja ag’omusingi kkumi n’abiri ag’abatume b’Omwana gw’Endiga.

15 (L)Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo. 16 Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, n’obuwanvu nabwo nga bwenkana n’obugazi awamu n’obukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo. 17 Ate n’apima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ng’ekipimo ky’omuntu bwe kiri ng’apimye, awamu n’eky’abamalayika. 18 (M)Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi. 19 (N)Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, 20 (O)ogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito. 21 (P)Ate emiryango ekkumi n’ebiri gyakolebwa n’amayinja ag’omuwendo aga luulu ennungi kkumi n’abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n’ejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ng’endabirwamu.

22 (Q)Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo. 23 (R)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24 (S)Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25 (T)Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. 26 Kirifuna ekitiibwa n’ettendo eby’amawanga. 27 (U)Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.

Omugga ogw’Obulamu

22 (V)Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, (W)nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. (X)Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, (Y)era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. (Z)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. (AA)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”

Okujja kwa Yesu

(AB)“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”

(AC)Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; (AD)kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”

10 (AE)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 (AF)Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

12 (AG)“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 13 (AH)Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

14 (AI)“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 15 (AJ)Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.

16 (AK)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”

17 (AL)Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.

18 (AM)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (AN)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

20 (AO)Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”

Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!

21 (AP)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.