Read the New Testament in 24 Weeks
Omukazi n’Ogusota
12 Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. 2 (A)Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. 3 (B)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. 4 (C)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. 5 (D)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. 6 (E)Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.
7 (F)Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. 8 Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. 9 (G)Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.
10 (H)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,
“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
n’obwakabaka bwa Katonda waffe
awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
agobeddwa mu ggulu.
11 (I)Ne bamuwangula
olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
nga tebatya na kufa.
12 (J)Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,
nammwe abalituulamu musanyuke.
Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,
kubanga Setaani asse gye muli
ng’alina obusungu bungi,
ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”
13 (K)Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. 14 (L)Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng’eby’empungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gy’alabiririrwa era gy’akuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera n’ekitundu ky’ekiseera. 15 Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. 16 Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. 17 (M)Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana b’omukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. 18 Ne guyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
Ekisolo Ekyava mu Nnyanja
13 Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. 2 (N)Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi. 3 (O)Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo. 4 (P)Ne basinza ogusota olw’okuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era n’ekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”
5 (Q)Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu eby’okwegulumiza n’eby’obuvvoozi era ne kiweebwa n’obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. 6 (R)Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda n’obutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw’abeera, ne kivuma n’abo ababeera mu ggulu. 7 (S)Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu n’okubawangula era n’okufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi. 8 (T)Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.
9 (U)Alina amatu awulire.
10 (V)Buli ow’okutwalibwa mu busibe
wa kusiba.
Era buli ow’okuttibwa n’ekitala,
wa kuttibwa na kitala.
Kubanga awo okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu we kutegeererwa.
Ekisolo Ekyava mu Ttaka
11 Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ng’ag’akaliga akato naye ng’eddoboozi lyakyo liri ng’ery’ogusota. 12 (W)Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna. 13 (X)Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ng’okuwandula ennimi ez’omuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba. 14 (Y)Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona. 15 (Z)Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza. 16 (AA)Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, 17 (AB)nga tewali n’omu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero ak’erinnya ly’ekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.
18 (AC)Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu g’omuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gw’omuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.