Read the New Testament in 24 Weeks
Ennaku ez’Oluvannyuma
3 (A)Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. 2 (B)Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, 3 nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, 4 (C)nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; 5 nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.
6 (D)Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, 7 abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima, 8 (E)nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu. 9 (F)Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.
10 (G)Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange, 11 (H)n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna. 12 (I)Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga. 13 (J)Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula. 14 (K)Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali. 15 (L)Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. 16 (M)Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, 17 (N)omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.
4 (O)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe, 2 (P)buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza. 3 (Q)Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. 4 Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. 5 (R)Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.
6 (S)Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. 7 (T)Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. 8 (U)Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.
9 Fuba okujja amangu gye ndi. 10 (V)Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. 11 (W)Lukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza. 12 (X)Tukiko n’amutuma mu Efeso. 13 Bw’obanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga n’emizingo gy’ebitabo, na ddala egyo egy’amaliba.
14 (Y)Alegezanda, omuweesi w’ebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olw’ebikolwa bye. 15 Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe. 16 (Z)Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. 17 (AA)Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma. 18 (AB)Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
Okulamusa n’Omukisa
19 (AC)Nnamusiza Pulisika ne Akula n’ab’omu maka ga Onesifolo.
20 (AD)Erasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde. 21 Fuba ojje ng’ebiseera by’obutiti tebinnaba kutuuka.
Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’abooluganda bonna.
22 (AE)Mukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.